ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti ye Mukono bali mu kattu oluvanyuma lw’embalirira y’omwaka gwe by’ensimbi 2019-2020 okubalemerera okuyisa wiiki ewedde.
Omukubiriza w’olukiiko lwa Disitulikiti eno Emmanuel Mbonye nga 28/05/2019 yatuuza olukiiko olwali lugendereddwamu okuyisa bajeti eyo buwumbi obusoba mu 44, kyokka entekateeka yonna neegwa butaka, nga abamu ku ba kkansala bagamba nti empapula okuli embalirira bazibawereza nga obudde bugenze nga n’olwekyo baali tebanaba kwetegereza bulungi ebyali bigenda okuyisibwa.
Kkansala akiikirira e Gombolola ye Nama Fred Musonge yategeeza Sipiika nti abakiise baali bakyetaaga okuwebwayo akaseera bongere okwetegereza embalirira eno era Sipiika nakkaanya ne kiteeso kino era n’awagirwa abamu ku ba Kkansala olukiiko neluggwa nga embalirira teyisiddwa.
Kino kyaleetawo obunkenke kubanga ebbanga lyali liweddeyo mwe baali balina okuyisiza embalirira eno kubanga etteeka liwa obutasukka nnaku za mwezi 30 ogw’okutaano Gavumenti ez’ebitundu zonna okuba nga zimaze okuyisa embalirira yaazo era nga bwe ziremererwa Minisitule y’ebyensimbi ebasalako ebitundu 20 ku 100.
Wano Ssentebe wa Disitulikiti Andrew Ssenyonga yagenda mu maaso nawandiikira Sipiika Mbonye asale amagezi atuuze kkanso eyamangu nga 29/ 05/ 2019 basobole okuyisa embalirira nga ennaku ezabawebwa tezinnagwako wabula Sipiika n’alemererwa.
Embeera yayongera okwononeka ennaku bwe zaggwayo era ne wabaawo ne byayitingana nga bagamba nti embalirira yayisibwa mu budde obutali mu mateeka kyokka Sipiika Mbonye leero avuddeyo ne yesammula eky’okuyisa embalirira era nalaga ne kiwandiiko kyawandikidde akulira abakozi mu Disitulikiti okukola entekateeka basobole okuddamu okutuuza kkanso basobole okuyisa bajeti.
Mbonye agamba nti yabadde tasobola kutuuza kkanso yamangu nga Ssentebe Ssenyonga bwe yabadde amusabye, nti kubanga kyabadde kimenya mateeka, era najjukiza akulira abakozi nti ekyo kyakolebwa mu mwaka gwa 2015, era yye ne banne abalala baatwala Disitulikiti ye Mukono mu mbuga ku nsonga yeemu era omusango ne gugisinga kyagamba nti yabadde tasobola kukikola.
Ono takomye awo era awandikidde ne ba Minisita okuli owe byensimbi nga kwotadde n’owa Gavumenti ez’ebitundu nga abategeeza nti olukiiko lwe yatuuza nga 28/05/2019 telwasobola kuyisa bajeti wabula nabategeeza nti entekateeka zikolebwa okutuuza olukiiko olulala balabe butya bweyisibwa.
Kino kitegeeza nti yadde embalirira ya Disitulikiti ye Mukono enegenda mu maaso n’okuyisibwa ba Kkansala obudde bwonna, tekigenda kujjawo kubasalako ebitundu 20 ku buli 100, kubanga baalemererwa okugiyisa mu budde obulambikibwa mu mateeka, nga kati obuwumbi 44 bugenda kusalwako obuwumbi 9 ekilowozebwa nti kiyinza okuzza emirimu emabega.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com