OMU ku bakulembeze ba bayisiraamu abatabuliki mu muzigiti gwe Nakasero Sheikh Yahaya Ramathan Mwanje ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gyamaze emyaka 3 ku misango gy’obutemu.
Ono ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 20 ezitali z’abuliwo nga nabamweyimiridde omulamuzi abasabye obukadde 10 obutali bwa buliwo saako n’okumuleetanga buli luvanyuma lwa mwezi gumu.
Shiekh Mwanje avunanibwa emisango egy’ekuusa ku butemu omwafiira omuselikale wa UPDF Major Muhamad Kiggundu saako n’omukuumi we Private Stephen Mukasa nga ennaku z’omwezi 26.11.2016 mu ka tawuni ke Msanafu mu Division ye Lubaga.
Bwabadde amulagira okweyimirirwa Omulamuzi wa kkooti enkulu ekola ku misango gya nnaggomola etuula e Makindye Duncan Gaswaga agambye nti Sheik Mwanje alina amaka ag’enkalakkalira mu Division ye Makindye, ate nga nabamweyimiridde balaze nti bantu babuvunanyizibwa abajja okumuzza mu kkooti buli lwanaba ayitiddwa.
Era agambye nti engeri Sheikh ono gyamaze ebbanga ery’emyaka 3 mu kkomera, wano ajja kuwa ennaku z’okuwulira omusango
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com