MAAMA w’omuyimbi omuto Patrick Ssenyonjo Madelin Namata ayanukudde ku mbeera eliwo evuddeko ne kitaawe Paul Mutabaazi okuva mu mbeera nasalawo okumujja ku Maneja we gyabadde abeera.
Namata okuva mu mbeera kiddiridde Paul Mutabazi, taata wa Fresh Kid okuggya omwana ku maneja Francis Kamoga amufudde omututumufu n’amutwala atandike okubeera ne mutabani we wakati mu kusika omuguwa.
Namata agamba agamba nti omwana we asigale ne maneja gw’abadde abeera naye kubanga y’amufudde ky’ali kuba Mutabazi yali yasuulawo dda obuvunaanyizibwa bwe nga taata.
Maneja Kamoga omwana yamuggya mu bbaala e Luweero ng’ayimba kaliyoki ku myaka mukaaga ng’asula njala era maama agamba nti kitaawe okumutwala agenda kumuzza mu mbeera y’emu eyokubonaboona gye yalimu luli, kyagamba nti tajja kukikkiriza kubanga ayagala omwana we abeere n’obulamu obulungi mu maaso.
“Nze sifaayo nnyo ku kya sente kubanga omwana wange yazekolera era bwaba akoze kye bampa kimmala, naye njagala asome ate nga bwatwala ekitone kye mu maaso, alinyamba nga akuze” Namata bwe yagambye.
Yagambye nti olumu Maneja yabawa obukadde 4,000,000 nti kyokka Kitaawe namuwaako emitwalo 200,000 zokka ekyaddirira kwe kuba nti yasalawo okuzibagabanyiza, ye Mutabaazi kye yagaana okukkiriza.
Wabula bino Mutabazi yagaanyi okubiwuliriza era yalemeddeko ng’agamba nti ayagala mutabani we era nga taata ye muntu omutuufu alina okubeera n’omwana.
Yagambye nti agenda kumupangisiza e Naggulu gy’anaavanga okugenda ku Kampala Parents gye bamuwadde bbasale okusoma.
Namata agamba Mutabazi alemeddwa okwekolera alowooleza mu mwana okumugaggawaza era nti y’ensonga lwaki yamututte n’amuggya ku Kamoga amulabiridde obulungi.
Olw’okuba abazadde baayawukana (maama asiika chapati e Matugga gy’abeera ate taata asiiga ‘cutekisi’ e Luweero) ssente Fresh Kid z’akola mu bivvulu, maneja abadde abagabanyizaako n’abawako ng’abazadde kyokka Namata agamba Mutabazi abadde tamatira ng’alowooza nti ye (maama) bamuwa nnyingi okumusinga.
“Okumanya oyo omusajja alina omululu gye buvuddeko yagamba nti ayagala kutandika kutambula ne Fresh Kid mu bivvulu akwate ssente ze bamufuuwa ku siteegi.
Olulala yagamba nti y’essaawa bamuzimbire ennyumba bamugulire n’emmotoka ave mu kusiiga ‘cutekisi’ kubanga mutabani we akola ssente naye kale amututte Mukama y’amanyi,” Namata obwedda ayogera nga bw’akolima bwe yagambye.
Yagasseeko nti waakulwana okutuusa ng’omwana amuggye ku Mutabazi tagenda kukkiriza mutabani we kuddayo mu mbeera gye yalimu.
Ye Kamoga yalaze obutali bumativu olw’okumutwalako omwana kyokka yagambye nti kati kiri eri bazadde okusalawo ku bulamu bwa Fresh Kid obw’omu maaso era tayagala kuyingira mu nsonga za famire.
Fresh Kid aba Ruparelia Foundation baamuwa bbasale ya myaka 7, era ne beeyama okumulabirira ku ssomero saako ne ntambula emuleeta ku ssomero n’okuddayo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com