OMUKULEMBEZE wa Basawo b’ekinnansi mu Ggwanga Kezia Nabakooza Kulannama alayidde okusooka okulwanirira Basawo banne abaamuteekamu obwesige abakulembere nga abateekamu embeera y’okwekulakulanya, kyagamba nti bwe banaaba balinamu ku kasente mu nsawo omulimu gwabwe gujja kw’ongera okugenda mu maaso.
Kulannama agamba nti embeera Abasawo gye balimu ssi yamulembe yadde nga bakola omulimu munene okujjanjaba abalwadde ababa bagenze gye bali nga balina endwadde ez’enjawulo, ate nga n’okusaba abalwadde emitemwa gye nsimbi empitirivu ssi kirungi nti kubanga kibamalamu amaanyi yadde nga bandibadde baagadde obujjanjabi.
“Nze kyengenda okusooka okubakolera kwe kulaba nga tusala amagezi butya bwe tugenda okwekulakulanyamu, kubanga omusawo nga alinamu akasente mu nsawo aba asobolera ddala okukola emirimu bulungi nga talinaamu nkenyera oba okukana abalwadde ensimbi empitirivu olumu ezibaviirako okudduka ne batuuka n’okutuvumirira nti tuli balyi ba nsimi kye kyokka” Kulannama bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde Busega mu Division ye Lubaga mu kutongoza offiisi y’obukulembeze bwa Kampala saako n’okulayiza abakulembeze be kitundu kya Kampala, era nga yawerekeddwako Ssabakabona we nzikiriza y’obuwangwa ne nnono Jjumba Lubowa Aligaweesa.
Yakuutidde abasawo bulijjo okubeera abayonjo nga mpisa tebazerabidde kye yagambye nti mu bukulembeze bwe ayagala abasawo babeere eky’okulabirako eri abantu abalala.
“Basawo banange kigambo mpisa kintu kikulu kubanga muli ba jjajja ba baana, era mbasaba mwewale embeera y’okuganza abalwadde kubanga ejja kubaviirako okuwebuuka mu bantu ate nga mukola omulimu gwa ttendo era abantu babawa ekitiibwa kyamwe” Bwe yayongeddeko.
Ye Ssabakabona Jjumba Aligaweesa mu kwogera kwe yasabye abasawo okubeera obumu saako n’okwewala abo ababatematemamu kye yagambye nti kino kigendererwamu kubanafuya saako n’okubaleka okusigalanga emabega mu buli kintu.
“Nze natandikawo bbanka ye nzikiriza era nga eno mujja kujjangamu akasente ku magoba amatono mwekulakulanye, muwerere abaana bamwe nga kwemutadde n’okulabirira amaka gamwe, kubanga twetaaga okudda ku mutindo kubanga tuli bantu babuvunanyizibwa.” Jjumba bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com