ABABBI b’emmundu balumbye edduuka lya Cheap HardWare elisangibwa mu Kabuga ke Nansana e Wakiso ne bakuba abantu abawezeeko amasasi 3 ne bafiirawo.
Kitegerekese nti abantu abafudde babadde bakola mu dduka lino elitunda ebizimbisibwa, era nga abakozi abawerakobattiddwa era nga kati emirambo kikyagangalamye mu bitaba by’omusaayi mu dduuka munda.
Aberabiddeko bino nga bigwawo bategezezza nti ababbi bazze ne bakaka abatunda mu dduka lino okubawa ensimbi era bagenze okuwulira okulwanagana munda ekiddiridde ge masasi okunyooka.
Mu kiseera kino abattiddwa tebanategerekeka mannya era nga ne Poliisi emaze okutuuka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com