SSABAWAABI w’emisango gya Gavumenti Mike Chibita kyadaaki asazeewo najjawo emisango omuli obuli bwe nguzi egibadde givunanibwa Omupoliisi Siraj Bakaleke, eyadduka mu gye buvuddeko ng’atidde okumukwata.
Okusinziira ku bbaluwa eyafulumiziddwa nga 24 omwezi gw’okutaano era nga etereddwako omukono Chibita yennyini yalaze nti Gavumenti tekyalina musango gwonna gwevunaana Bakaleke ne banne 8.
“Njagala okubategeeza nti ekitongole ekikola ku kuwaaba emisango kisazeewo obutagenda mu maaso n’okuwulira emisango egibadde givunanibwa Haj Siraj Bakaleke, Paul Mugoya Wanyoto, Samuel Nabeta Mulowooza, Innocent Nuwagaba, Robert Ray Asiimwe, Junior Amanya, PC Gastavas Babu ne PC Kenneth Zirintusa, ababadde bavunanibwa emisango omuli okukozesa obubi offiisi, Okubulankanya ensimbi, okufuna ensimbi mu lukujjukujju, okwekobaana okuwamba abantu ne milala” Chibita bwe yawandiise.
Gye buvuddeko ekitongole kya kkooti ekikola ku kulwanyisa obukenuzi kyali kyaggulawo emisango omuli ogw’okukozesa obubi offiisi, okwekobaana ne kigendererwa eky’okuwamba abantu ba nnansi be Ggwanga lya Korea ne milala era ne bayisa ne kiwandiiko ki bakuntumye Bkaleke ne banne bakwatibwe.
Kibadde kigambubwa nti bano baali bawamba ba musiga nsimbi bannansi ba Korea era ne babanyagako ensimbi emitwalo gya doola 415,000 nga 4 ogw’okubiri omwaka guno.
Wabula olwaleero omu ku bawaabi b’emisango gya Gavumenti okuva mu kitongole kya kooti ekilwanyisa obukenuzi Harriet Ongom ayanjudde ebbaluwa ejjawo emisango gino eri omulamuzi wa Kkooti Moses Nabende.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com