ABATUUZE b’okukyalo Bulaga ekisangibwa ku luguudo oluva e Iganga okudda e Jinja baguddemu ensisi emmotoka ekika kya Takisi bweremeredde omugoba waayo n’esaabala abalamazi ababadde emabbali w’ekkubo nga bava e Bugoma mu ggwanga lya Kenya okugenda ku kiggw akya bajulizi e Namugongo, 4 kubo n’ebattirawo, abalala 7 ne bagenda ne bisago eby’amaanyi.
Emotooka eno no UBD 760W kigambibwa nti ebadde evugibwa ku misinde emiyitirivu nga eva ku ludda lwe Iganga, era omugoba waayo olwamaze okulaba nga asse abantu n’amalamu omusubi.
Omwogezi wa poliisi mu Ggwanga Fred Enanga yategezezza nti abalamazi abaafudde kwabaddeko Obanga Ashiuma 48, Roseline Wanjala 51, Sara Adiambo ne Madinde Evelyn nga bonna bava Bungoma mu Kenya.
Yagambye nti abalala 7 abaddusiddwa mu malwaliro ag’enjawulo okusobolaokufuna obujjanjabi obusingawo, abalala abalusimattuse basazeewo okweyongerayo n’olugendo okutuuka e Namugongo.
Yagambye okusinziira ku bakugu abasindikiddwa awagudde akabenje kano, baazudde nti waabaddewo obulagajjavu okuva eri omugoba wa motooka ya takisi era nagamba nti bagenda kumunoonya yonna gye yeekwese akwatibwe.
“Tugenda kulaba nga tuyambako okutambuza emirambo gy’abafudde okugizaayo ewaabwe mu Ggwanga lya Kenya, saako n’okulaba nga abaasigaddewo baatuuka bulungi e Namugongo” Enanga bwe yagambye.
Gye buvuddeko omuddumizi wa Poliisi ye Ggwanga Martin Okoth Ochola yalagira abakulira Poliisi mu ma Disitulikiti abalamazi gye bagenda okuyita okubawa obukuumi basobole okutuuka e Namugongo mu mirembe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com