OMUKUUMI w’omubaka Omukyala owa Disitulikiti ye Buvuma mu Palimenti Nantume Egunyu avudde mu mbeera nakuba omutuuze amasasi agamuttiddewo nga entabwe evudde ku batuuze ababadde bagaanye Nantume okwogerera mu lukiiko lw’abadde yayise ku Kizinga kye Bugaya.
Afudde ategerekese nga ye Sadik Sabiiti omutuuze w’okukyalo Kiziba ekisangibwa mu Gombolola ye Bugaya nga ono ateberezebwa okuba nti abadde akulembeddemu akabinja k’abantu ababadde beesomye okulemesa Omubaka Nantume okw’ogerako eri abantu era nti ono agezezzaako okusika omuzindaalo aguzze gye babadde bagupangisizza nga omukuumi kye kimujje mu mbeera namukuba amasasi agamusse, bwabadde agezaako okukakkanya ebbiina ly’abantu
Omukuumi ono atanategerekeka mannya yaweebwa Nantume abakulu mu ekitongole kya Poliisi okusobola okumukuuma kubanga mu bitundu ebimu e Buvuma abatuuze baali baamugaana okulinnyayo nga bagamba nti yali abaliddemu olukwe bwe yagamba nti ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we Ggwanga lijjibwewo, bo kye bagamba nti ssi kye baamutuma.
Olwaleero Nantume abadde agenze ku kizinga kye Bugaya okubaako emirimu gy’akolayo egy’obubaka era nga eno gye bazaala ne mubaka munne Robert Migadde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com