POLIISI ye Ggwanga elangiridde entekateeka egendereddwamu okuwa obukuumi abalamazi abali mu makubo nga batambula okugenda ku kiggwa kya bajulizi e Namugongo.
Okusinziira ku bakulu mu Poliisi bagamba nti bakirabye nga omuwendo gwa balamazi abatambula buli mwaka gugenda gweyongera nga omwaka guno balabika bagenda kuwera 500,000 emitwalo ataano, era nga abamu ku bano batandise dda okutambula okutuusa nga 3 ogw’omukaaga ku ntikko ye mikolo.
Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga agambye nti bamaze okutegeeza enkambi za Poliisi n’amaggye okwetolola eggwanga lyonna okufaayo ennyo okuwa obukuumi abalamazi naddala abagenda okutambuza ebigere nga bayita mu bitundu eby’enjawulo.
“Tukizudde nti bambi abantu bano bwe baba batambula basanga abizibu bingi eby’ekuusa ku by’okwerinda omuli okubbibwako ebintu byabwe, emmotoka eziba zidduka emisinde egy’amaanyi zibatomera ne bilala, naye abaddumizi ba Poliisi zonna mu ggwanga bamaze okutegezebwa era tukkiriza nti omulimu gw’okukuuma abalamazi gujja kutambula bulungi” Enanga bwe yategezezza.
Yanyonyodde nti ne ku kiggwa kye Namugongo wenyini nawo bamaze okutekawo abakuumi mu kiseera kino okwewala abantu abayinza okuletawo obujagalalo mu kiseera ky’okulamaga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com