ABAKULEMBEZE be Kibuga kye Mukono batandise kawefube agendereddwamu okuggulawo amakubo amaggya ne kigendererwa ekyokuyamba abatuuze b’omubyalo okutambuza eby’amazuzi byabwe nga babitwala mu butale bwomubibuga.
Ebimu ku byalo ebigenda okuganyulwa mu ntekateeka eno mulimu ekye Ngandu, Katikkolo ne Lweza byonna ebisangibwa mu Division ye Mukono nga eno buli kyalo bagenda kukikolera kilo miita 5 munda okuzituusa ku makubo amanene okusobozesa abatuuze naddala abalimi okutambuza ebyamaguzi byabwe.
Meeya we kibuga kye Mukono George Fred Kagimu yagambye nti babadde bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze abenjawulo naddala abasuubuzi b’ebilime saako n’amanda nti amakuba agayingira mu byalo gasusse okubatawaanya olw’obufunda nga kwotadde n’obuseerezi nga enkuba etonnye.
“Kati mmaze okufuna amafuta gonna ate ekirungi n’ebyuma ebilima enguudo bilamu kati ngenda kukwata ttiimu yange eya ba yinginiya tulumbe mu byalo tulimire abantu baffe enguudo zonna embi saako n’okuggulawo zonna ez’etaagisa.” Kagimu bwe yagambye ku lw’okutaano.
Bbo ba Ssentebe ab’enjawulo mu byalo mu Division ye Goma baamutegezezza nti nabo enguudo zibafuukidde ekizibu mu bitundu byabwe okuli oluva e Bukerere okudda ku kyalo Nnyanja lwe baagambye nti lwa Munisipaari nga kyetagisa okulukolako okusobozesa abatuuze abalukozesa okulweyagaliramu.
Mu kwanukula Kagimu yeeyamye okulukwatako amangu ddala, nabategeeza nti bwe bamaliriza mu Division ye Mukono obwanga bakubwolekeza Goma.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com