PULEZIDENTI Museveni agambye nti ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti erimu kawuukuumi kye yava asalawo okulondayo obukiiko obulala mu ofiisi ye okwongera amaanyi mu kulwanyisa enguzi.
Yagambye nti ebifo okuli ekya URA, Kaliisoliiso wa gavumenti n’ebirala baatunuuliranga busobozi bwa muntu naye kati bafaayo nnyo ku muntu kuba na bitabo so nga omuntu ayinza okuba n’obusobozi nga bumanyiddwa wadde talina bitabo bisukkiridde.
Yagambye nti singa ossaawo abaserikale okukuuma ebintu by’abantu kyokka okubeemulugunyako ne kuyitirira, olina okubassaako abaserikale nabo ababalondoola naye kye yakola n’assaawo obukiiko obulala obulondoola abali b’enguzi.
Yawadde ekyokulabirako nti yassaawo akakiiko akalondoola eddagala mu malwaliro nti era kakoze kinene okukwata ababba eddagala lya gavumenti, n’akakiiko akalala ke yateekawo, ke kalondoola bayinginiya ababadde bakola enguudo mu ngeri ya gadibengalye.
Yakiggumizza nti tewali muntu asukkiridde bunene mu Uganda atayinza kukwatibwa ng’alidde enguzi n’ajjukiza nti yali yaakajja mu buyinza, bwe yatandika okulwanyisa enguzi nga waliwo abawoza ‘twakalaba’, naye kati bano bonna abalinnye ku nfeete.
Yeenyumirizza ku ky’okulwa mu buyinza n’agamba nti kimuyambye okufuna obudde obumala okulwanyisa enguzi nga kati w’etuuse ekendedde mu ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com