PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni asabye Klesia y’abasodokisi okukubiriza abakkiriza okwenyigira mu njiri ya gavumenti ey’okweggya mu bwavu nga batandikira kweebyo ebireeta ennyingiza mu maka okusobola okubugoba ate n’okuwagira emirimu gya Katonda.
“Ndi musanyufu okuwulira nti bannaddiini mu ggwanga bavuddeyo okukolagana ne Gavumenti okutumbula embeera z’abantu. N’olwekyo nsaba abakulira abasodokisi mu ggwanga okwongera okubasomesa n’okubakubiriza okwenyigira mu nteekateeka ezigaziya enyingiza mu maka kubanga abakkiriza bwebabeera n’ensimbi ate meirimu ng’okuzimba klesia, gwanguwa,”Museveni bweyagambye
Yeyamye ensimbi obukadde 300 ku mulimu gw’okuzimba lutikko eno wabula nasooka awayo obukadde 30 nasuubiza okugenda mu mikwano gye mu mawanga omuli Obusodokisi nga Buyonaani, Russia, Misiri, Serbia, Ethiopia, Eritrea n’endala asakire omulimu guno nga bweyakola ku basiramu bweyabasakira emikwano egyazimba yunivasite e Mbale n’ekizimbe King Fahd Plaza mu Kampala.
Omubaka Theodore Ssekikubo nga yakulira ekitongole kya Klesia eky’enkulakulana (Uganda Orthodox Church Commission) yategezezza Pulezidenti nga bwekifunvubidde okulaba nga kireeta enkulakulana okuyita mu kuteekawo amalwaliro, amasomero n’ebitongole ebirala era naasaba gavumenti eveeyo bukukubira, okukolagana ne klesia mu mirimu gino.
Mu kwanukula, Museveni yategezezza ng’ensawo ya klesia ey’enkulakulana bwagitaddemu obukadde 80 ate ekibiina kya bafaaza abasodokisi eky’obwegassi (sacco)nakiteekamu obukadde 20.
Viika w’eklisia, Rev. Fr. Paul Mutaasa yategezezza Pulezidenti nga klesia bwerina ekizibu ky’abasatuukira ku ttaka kwasimbye ejjinja ng’ate eririnako ebiwandiiko okuva e Mmengo kuba lyaweebwayo Ssekabaka Daudi Chwa II bwatyo naasaba ensonga eno agiyingiremu,omulimu gwa Katonda gugende mu maaso.
“Muntegezezza ku beesenza ku ttaka lino. Njagala okubasisinkana twogeremu wabula si kubaliyirira kubanga mwesenza ku ttaka eririko bannanyiniryo naye ng’omukulembeze kinkakatako okubaddukiririra,” Museveni bweyayogedde ku nsonga eno.
Minisita wa Kampala, Betty Namisango Kamya yategezezza nga bweyali omu eyaguzibwa ettaka mu kifo kino mu 2007 ku bukadde 20 kyokka olw’omulimu gw’okuzimba klesia yasazeewo okuliwayo liddire klesia era neyebaza Pulezidenti okusalawo okusisinkana abasenga ku ttaka lino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com