OMUSUMBA Martin Sebuguzi eyayawukana ne n’omusumba Aloysias Bugingo gye buvuddeko naye avuddeyo nayatula ekyama nti naye ekyamwawukanya ne Paasita Aloysius Bugingo yali muwala Susan Nantaba Makula.
Sebuguzi okwogera kiddiridde muka Bugingo, Teddy Naluswa okuvaayo n’alumiriza omuwala Nantaba okubeera nga ye yamalawo essanyu ly’obufumbo bwabwe, oluvannyuma lw’okuganza bba gw’amaze naye emyaka 29.
Yalowooza ku Nantaba gwe yali alese ku Alfa leediyo eya Dr. Joseph Serwadda n’amukimayo kuba yali amulabye nga bw’amukolamu omulimu asobola okubeera omulungi. “Namuyigiriza buli kimu ne Bugingo n’asiima obuweereza bwe.
Yategezezza nti Bugingo yawuliranga bubi buli lwe yalabanga Sebuguzi okumpi ne Nantaba. Ayongerako nti kino kyali kimweraliikiriza bwereere kuba enkolagana yaabwe yali ekoma ku bya mirimu. “
Ku by’okutabuka kwa maka ga Bugingo Sebuguzi yagambye nti takuwagira era akuvumirira kubanga engeri gye bali bantu ba kkanisa kiba kirabika bubi eri abagoberezi.
Yakkaatirizza ebyayogeddwa Naluswa nti Bugingo eky’okuwaayirizanga abantu b’atabuse nabo nti babadde bagenda kumuwa butwa akikozesa kwonoona mannya g’abantu abo. Muka Bugingo yamwogeddeko nga omukazi ow’amazima era omuweereza wa Katonda atabwerimbiseemu bwerimbisi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com