BANNAMAWULIRE abegattira mu bitongole eby’enjawulo mu Ggwanga bavuddeyo ne bambalira abitongole bye by’okwerinda bye bagambye nti bisusse okubatulugunya wakati mu kukola emirimu gyabwe.
Bano okukangula ku ddoboozi babadde b’etabye ku mikolo gy’okukuza olunaku lwabwe mu Nsi yonna olumanyiddwanga World Press Freedom Day ku kibangirizi ky’eggaali y’omukka mu Kampala we basinzidde ne bata akaka eri ekitongole kya Poliisi, amaggye ne bilala olw’okubalemesanga okukola emirimu gyabwe nga n’olumu babawuttula emiggo nga kwotadde n’okwonoona ebyuma ebikozesebwa mu kusaka amawulire.
Bano bategezezza nti kyetagisa okubaawo enkolagana wakati w’ebitongole bino nabo okusobola okutambuliza awamu eggwanga kubanga batuuka ekiseera nga nabo beetaaga bannamawulire okusobola okutambuza amawulire nga kwotadde n’okutegeera ebifa mu bantu ba bulijjo.
Bano era awatali kwesalamu baategezezza nti ensimbi ezibasasulwa bannanyini bitongole ebyamawulire bye bakolera ntono ddala era nga kino kivvuddeko bangi kubo okulekulira omulimu gwa mawulire ne batandika okukola ebilara yadde nga babade balungi.
“Tukooye okukolera ebitole bye mmere ate nga tukola obuteebalira, tusaba abatukozesa okutulowoozaako ennyo, kubanga olumu ensimbi ezitusasulwa zitumalamu amaanyi” Bannamawulire bwe baategezezza.
Omwogezi w’ekitongole kye by’okulonda Jotham Taremwa yagambye nti bagenda kuteekawo entekateeka y’okubangula bannamawulire mu kiseera nga eby’okulonda bituuse, kye yagambye nti kigenda kuyambako bannamawulire okumanya eky’okukola wakati nga bawereza amawulire ku bigenda mu maaso mu kulonda.
Ye omwogezi wa Gavumenti Ophono Opondo yenyamidde olw’abamu ku bannamawulire okweyisa mu ngeri atali ya bugunjufu, nagamba nti waliwo n’abatuuka okutekawo ebisonga songa ebitaliiwo basobole okujja ensimbi ku bakungu b’aGavumenti mu lukujjukujju.
Yagambye nti Gavumenti egenda kugenda mu maaso n’okukolagana ne Bannamawulire naddala mu nsonga z’okukulakulanya eggwanga, okutegeeza Gavumenti ku kyetagisa okukola wakati mukukulakulanya abantu baayo saako n’okulwanyisa enguzi.
Akulira ekitongole ekilwanirira eddembe lya Bannamawulire ki Humana Rights Network For Journalists Uganda HRNJ Robert Ssempala yagambye nti tebagenda kuttira muntu yenna ku riiso nga atulugunyizza bannamawulire n’asaba wabeewo enkwatagana wakati wa beby’okwerinda saako ne kkooti okusobola okutereeza omulimu gw’amawulire.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com