OMUSUMBA Aloysius Bugingo ayongedde okulumba mukazi we Teddy Naluswa nti taba kwawukana naye yandimukoze ekibi kubanga Teddy abadde waabulabe nnyo eri Bugingo. Bwe yabadde mu kusaba kwa ‘Lunch Hour’ eggulo mu kkanisa ya House of Prayer Ministries e Makerere yagambye: mbasaba munsonyiwe kubanga hhenda kwogeza bukambwe.
Ssinga si ssaala zammwe ze munsabira mwandibadde munsoma mu mawulire ng’Omusumba eyattiddwa mukyala we,” bwe yategeezezza wakati mu kasiriikiriro akaabadde mu kkanisa.
Bugingo yabadde yaakatandika okwogera, abagoberezi ne bamukubira engalo. N’akangula ku ddoboozi, “Ndi musanyufu nnyo okutuuka essaawa eno nga nkyali mulamu era nga nkyasobola okubaweereza kuba abantu bangi abattiddwa bakazi baabwe nga; Kasiwuukira, Nsenga, omusumba Tinkasiimire, James Kazini n’abalala era bonna tuboogerako ng’abagenzi mu kiseera kino,” bwe yakkaatirizza.
Yatuuse ekiseera n’aggyayo akatambaala okusiimuula entuuyo, nga bw’agamba nti mwetegefu okulekawo amaka ge agatunula ng’omuntu agasangibwa e Kitende asobole okutaasa obulamu bwe kubanga bwe businga.
“Nze nnava e Masaka nga ndi ku loole ya matooke ne ntandikira ku zeero noolwekyo ebintu bakola bikole si kye kikulu naye ekikulu kusigaza bulamu n’oweereza Katonda eyakutonda kubanga asobola okukuwa ebisingawo. “Abalabe b’omuntu tebabeera wala naye nange bulijjo nsula nabo mu nnyumba nga simanyi.
Naye kati Mukama abandaze era abo bonna abawoza mbu tumaze emyaka mingi tetusobola kwawukana tebamanyi kye boogerako kubanga ne sitaani gwe tulwanyisa essaawa eno naye yaliwo kuva dda naye na kati tukyamulwanyisa.”
Bugingo yagasseeko nti abamuwakanya olw’okuba ekkanisa agirinamu emigabo 100 ku 100 bamala biseera kubanga ye bwe yali asaba yasaba ku lulwe era nabo ne basaba ebyabwe era buli omu Katonda yamuwa ku lulwe.
Ekkanisa empya gy’agenda okuzimba eyitibwa Pentagon yaweze nga bw’erina okubeera ku ttaka lino era abakiwakanya bamala biseera kuba ne ssente ezaagula ettaka lino abagoberezi be baazisonda era be bannannyini migabo. Ettaka lino liwerako yiika 8 n’ekitundu, lyamalawo doola obukadde bubiri n’emitwalo 15 (eza Uganda obuwumbi 8 n’obukadde 50).
Bugingo yaweze nti sitaani ne bw’avaayo ne yeeyoleka atya tewali kigenda kugaana kuzimba kkanisa ku ttaka lya Canaan, wadde nga waliwo abaggulawo emisango basobole okubba ssente ezisondebwa. Mu nnaku 100 zokka basobodde okusonda obukadde 1,070 z’agamba nti abamulwanyisa ze baagala okubba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com