OMUWANDIISI we kitongole ekilamuzi Esther Nambayo asabye ekitongole ekivunanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ku Kkooti z’eGgwanga okunonyereza ku bigambibwa nti omukozi waakyo avunanyizibwa ku kukutekateeka n’enkulakulana Fred Waninda yakakkana ku bannamawulire 2 naakuba era n’ayonoona ye kkamera zaabwe.
Okusinziira ku katambi akaakwatibwa bannamawulire kalaga nga Waninda akuba Hannington Kisakye akolera ekitongole kya Smart 24 ttivvi wamu ne munne Eri Yiga akolera ekitongole kya Salt Media, bwe baali ku kkooti ye by’obusuubuzi mu Kampala ku lw’okuna oluwedde, bwe baali bagezaako okukwata ebifananyi bya bantu abafuluma okuva mu kkooti.
“Nfunye okwemulugunya okuva mu bannamawulire abenjawulo nga bagamba nti Waninda yakuba banaabwe nga 24 omwezi guno bwe baali bakola emirimu gyabwe ku kkooti ye by’obusuubuzi bwe yali ava mu maaso g’omulamuzi Jane Elizabeth Alividza.” Nambayo bwe yategezezza.
Ono yasabye ekitongole ekilamuzi okunonyereza ku nsonga eno, era kileete bye kinaaba kifunye mu nnaku 7 zokka, olwo basalewo eky’okukolera Waninda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com