MINISITA omubeezi ow’ebyobulamu Sarah Opendi alabudde akulira akakiiko ke by’okulonda mu kibiina kya NRM Tanga Odoi okukomya okutiisatiisa abalonzi mu kitundu kya Budaama kyagamba nti kino kikolwa kyabwanakyemalira ye nga Minisita kyatagenda kugumikiriza mu kitundu kyakikirira.
“Tanga osusse okutiisatiisa abalonzi nga bwogenda okubasiba naye kimanye nti okulira bukulizi kakiiko ka by’akulonda ak’ekibiina era emirimu gyo girina kulabika nga okulonda kutuuse sso ssi kwewera nga bw’ogenda okusiba abalonzi b’eTororo.
Omwami ono talina yadde ekifo mu Gavumenti mwasinziira kusibisa balonzi, yadde ffe ba Minisita tetusobola kwogera kigambo kyonna eky’ekuusa ku kutulugunya abalonzi, wabula tumusaba yeddeko ate amanye waakoma, kubanga buli lwajja eno e Budaama bwakwata akazindaalo yeewera kusiba bantu” Opendi bwe yagambye.
Mukwanukula Odoi yagambye nti tajja kutunula butunuzi nga abaagala ebifo by’obukulembeze mu kibiina bagenda mu maaso n’okugulirira abalonzi nga ekiseera ky’okulonda tekinatuuka.
Yagambye nti abantu bangi bamwogerera ebisongovu olw’okuba bateegeeza bagoberere amateeka g’ebyokulonda, kyokka nagamba nti tajja kuddiriza buli kadde ajja kubajjukizanga.
Bano okulya matereke baabadde ku mukolo ogumu mu kitundu kye Tororo ku sande, okwabadde n’okusonda ensimbi okuzimba ekkanisa mu kitundu ekya West Budaama.
Sarah Opendi ye Mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Tororo, era nga eno ne Tanga odoi gye bamuzaala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com