OMUBAKA wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Ssentamu enkya ya leero akwatiddwa bwabadde agenda okweyanjula ku kitebe kya bambega ba Poliisi e Kibuli gy’abadde yayitibwa.
Ku lw’okutaano abakulira ekitebe kya bambega baayita Kyagulanyo agendeyo yeyanjule gye bali era abeeko byabuuzibwa ku nsonga z’okukuma omuliro mu bantu saako n’okutegeka okwekalakaasa kwe bagamba nti tekwali mu mateeka.
Kyagulanyi yasooka n’atumayo ba Namateeka be ku poliisi ababategeeza nti yali teyewulira bulungi era naabasubiza okujja ku mande olwaleero.
Wabula bwabadde agendayo ku nkya ya leero abavubuka aba zi Boda Boda ne batandika okumwegattako, ekiddiridde ye Poliisi okumusalako nga tanatuuka ku Poliisi n”emukwata n’atawalibwa ku Poliisi ye Naggalama gy’akuumirwa kati.
Okusinziira ku looya we Asuman Basalirwa ategezezza nti Bobi wine bamutuusizza e Naggalama nga bamuyisizza kku luguudo lwa Northern By-Pass, okutuuka e Nalya, Namugongo, Seeta, Mukono mpaka Naggalama.
Agambye nti olumutuusizza ku Poliisi ye Naggalama abaselikale ne bamulagira ajjemu engatto, omusipi, n’ensimbi z’abadde nazo era ne bamuyingiza ekkomera gy’akuumirwa kati nga bwe balinda ekiddako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com