Wabaddewo akasatiro ku kkooti ye by’obusubuzi mu Kampala, akola ng’omuwandiisi we kitongole ekilamuzi ekya Planning, Performance and Development Fred Waninda bwasiwuse empisa n’akkakana ku bannamawulire
nabakuba.
Abakubiddwa kuliko Kisakye Hannington owa Smart 24 television ne Eric Yiga owa Salt Media nga bano babdde bagenze okusaka amawulire ku Kkooti kyokka Wanninda nabakakkanako n’abayisamu empi okukkakana nga kkamera gye babadde beeyambisa okukwata ebifananyi yonna yaononeddwa.
Bannamawulire babadde bagenze mu kkooti okuwulira omusango bamulekwa b’omugenzi Charles Mulindwa Mubi saako n’abatuuze abali ku ttaka lye gwe baatwala mu kkooti ebayambe ku Waninda eyatwala ettaka
lyabwe mu lukujjukujju.
lyabwe mu lukujjukujju.
Kisakye agamba nti Waninda olwa mulabye ng’akwata ebifanannyi kwe kumukkakano n’amukuba saako n’okwonoona kkamera era ensonga yazitutte ku poliisi ya CPS e Kampala , wabula bweyatuuseeyo nebamujjuliza nti ensonga az’ongereyo mu b’ekitongole ekivunanyizibwa okulondoola kkooti.
Ayogeddeko nti era yagezezako okwagala okukuba bannamawulire abalala ababadde bakwata ebifanannyi ekyawaliriza abakuuma ddembe ababaddewo okumugyawo okutaasa embeera. Kisakye asabye ab’ekitongole ekilamuzi okuvaayo kikwate ku musajja wakyo asobole okufuna obwekanya.
Ono era alaze nga mu kiseera kino obulamu bwe buli mu matigga nga tamanyi mukulu ono kyazzaako olw’esonga nti abadde amaze ebbanga ddene nga yewera okutuusa obulabe ku bannamawulire.
Ye Eric Yiga agamba nti omukulu ono agufudde muze ogw’okukuba bannamawulire nga ne gyebuvuddeko yamulumba n’amukuba ng’ayambibwako abantu abatali bamu, bwatyo nasaba b’ekikwatako okuvaayo.
Ono akukulumidde poliisi ya CPS olw’obutabayamba nga buli ofiisi obwedda gye batuukamu nga babategezza ng’ensonga zabwe bweziri enenne nnyo ezetaaga abakulu okutuusa bwe balemeseddwa okugulawo omusango.
Abafamire ya Mulindwa balumiriza Wanninda gwe baleeta okubayambako munsonga z’amateeka bwe bali bagabana ettaka lya kitabwe mu 2014 ate n’abefuulira neyeddiza ettaka lyabwe ng’ayiita mukunjigirira
ebiwandiiko era nga musango guno guli mu maaso ng’omulamuzi Jane Margreat Alividza nga
gw’akuddamu okuwulirwa nga 15-16 omwezi ogujja.
ebiwandiiko era nga musango guno guli mu maaso ng’omulamuzi Jane Margreat Alividza nga
gw’akuddamu okuwulirwa nga 15-16 omwezi ogujja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com