0MUBAKA wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabirizza abapoliisi bebataddewo okumukuuma saako n’okumutangira okufuluma amakaage agasangibwa ku kyalo Magere mu Wakiso, nabaddukako okukakkana nga yetabye mu kuziika Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti ye Bugiri Hajji Siraj Lyavaala.
Kitegerekese nti Kyagulanyi yandiba nga yemuludde mu kiro ekyakeesezza olw’okuna oluvanyuma lw’okumubikira Haji Lyavaala kubanga abadde mukwano gwe nnyo era nga ne mu kalulu akaleeta Asuman Basalirwa mu Palimenti baali bonna.
Nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Face Book Kyagulanyi agambye nti abadde tayinza kusubwa kuziika mukwano gwe ate nga abadde munnabyabufuzi omukukutivu mu kitundu kye Busoga.
“Yadde nga Gavumenti eri mu buyinza egezaako okutwawula yawulamu naye tujja kusala amagezi twegatte wamu” Kyagulanyi bwawandiise.
Haji Lyavaala yafa mu kiro ekyakeesa olw’okusatu, era nga ono yaliko Ssentebe wa Disitulikiti ye Bugiri emirundi 2 nga avuganyiza ku kaadi ya NRM naye jjuuzi mu kalulu k’omubaka akiikirira Munisipaari ye Bugiri yasalawo okwegatta ku Asuman Basalirwa oluvanyuma lw’okusuulibwa mu kamyufu ke Kibiina kya NRM.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com