ABAKULIRA kkampuni ekola amazzi ag’okunywa agamanyiddwanga Hill Water bamaliridde okwongera okutumbula omutindo gw’amazzi aganywebwa abantu mu ggwanga.
Bano abaatandika omwaka oguwedde mu kiseera kino bebamu ku basinga okw’ogerwako olw’engeri gye baakolamu eccupa mwe baateeka amazzi gaabwe saako ne ddekende eligalimu, ekivuddeko buli muntu okugeyunira ku mikolo, ma wooteri saako n’abagula akamu akamu ku maduuka okwetoloola eggwanga lyonna.
Shatra Saadah Ndabani akulira ezirukanya y’emirimu mu kkampuni ya Hill Water yategezezza The Watchdog Uganda abaamusanze ku kitebe kyabwe ekisangibwa Lubaga Road ku kizimbe kya Access Building nti, bulijjo bakola ekyetagisa okulaba nga balongoosa bulungi amazzi gaabwe nga teganatekebwa mu maccupa okugatwala mu katale, okusobozesa abantu okuganywa nga temuli kakyafu konna.
Agamba nti balina abakugu abasooka okwekebejja omutindo gwago nga teganafulumizibwa okusobola okugatuusa mu katale nga buli aganywako akkiriza nti ddala mawoomu.
“Nga ojjeeko eccupa yaffe entono egula 1000 ate kati tulina ennene gye twatuumye “Jumbo” nga eno egenda kukozesebwa nnyo abalina emikolo, abamawooteri amanene saako ne mu zi office kubanga gakozesebwa abantu bangi” Ndabani bwe yategezezza.
Omutandisi wa kkampuni ya Hill Water Hajji Harunah Ssemakula yategezezza nti emu ku nsonga eyamutandisa omulimu guno kwe kufunira abavubuka emirimu naddala mu kiseera kino nga n’abasomyeko bakyatudde waka tebalina kye bakola.
“Ffe mukama baawadde obusobozi okutandika amakampuni nga Hill Water tulina okuyambako ku mukadde waffe omukulembeze we Ggwanga ku mulimu gw’aliko mu kiseera kino ogw’okutandikawo emirimu egiyamba abavubuka engeri gye bali nti bangi nnyo abatalina byakukola” Ssemakula bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com