Minisita w’egwanga omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu era nga ye mubaka wa Palamenti ow’e Bamunanika John Muyingo aduukiridde abakadde mu kitundu kyakikirira nga omu ku kawefube w’okubazaamu esuubi gwe yatandika gye buvuddeko.
Muyingo agamba nti abantu abakuze mu myaka balina okufiibwako baleme okuggwamu essuubi, kubanga amaanyi agakola baba tebakyalina.
Yabadde mu kkanisa y’e Kiziba – Kikyusa mu disitulikiti y’e Luweero oluvanyuma lw’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba.
Oluvannyuma minisita Muyingo bwe yavudde ku by’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba, yagabye ebirabo bya paasika eri abakadde 50 era nga buli kyalo balonzeeyo bannamukisa 10 okuva ku myaka 60 ng’ebyalo omuli Wakivule, Kyakatulo, Kiwamirembe, Ssennyomo B, ne Kabaloge era nga buli mukadde yafunye Bulangiti, emigaati, sukaali, omunnyo, amajaani ne sabbuuni.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com