POLIISI mu Kampala ezudde omulambo gw’omusawo w’eddwaliro lya International Hospital Kampala IHK abadde yabula gye buvuddeko.
Omulambo gwa Dr. Catherine Agaba gusangiddwa mu kinnya kya Kazambi mu maka agamu e Muyenga ku nkingizzi z’ekibuga Kampala.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire agaanye okwogera ebisingawo, nga agamba bakyalina bye bakyalinda balyoke baveeyo ne kiwandiiko ekyawamu nga ekitongole kya Poliisi.
Wabula nga ye omukuumi mu maka gano akwatiddwa kubigambibwa nti ayinza okubaako kyamanyi ku byekuusa ku kufa kw’omuwala ono.
Dr. Agaba yabuzibwawo nga 13 omwezi guno oluvanyuama lw’okusaba oluwummula lwa mwaka mulamba okuva mu ddwaliro lya IHK okuva olwo ga abadde yabula nga abantu be bamunoonya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com