OMUYIMBI Robert Kyagulanyi amanyiddwanga Bobi Wine naye akwatiddwa natwalibwa mu kifo ekitanategerekeka.
Ono akwatiddwa wamu n’omubaka wa Munisipaari ye Mityana Francis Zaake bwe babadde bagezaako okuyingira ekifo kya Biici ya One Love e Busabala ne kigendererwa eky’okwogerako ne bannamawulire ku mbeera eriwo oluvanyuma lwa Poliisi okugaana ekkivvulu kya Kyarenga Extra ekibadde kyategekeddwa ku Easter Moday.
Bobi Wine yasoose kuwandiika ku mukutu gwe ogwa Face Book nga agamba nti ye ne banne Poliisi ebalemesezza okutuuka mu kifo awabadde wagenda okubeera olukumgaana lwa bannamawulire, era nga agamba nti ne bwe kiba kiki agenda kufuba okulaba nga atuukawo.
Ekidiridde ye Poliisi okuleeta kasilingi yaayo n’esika emmotoka Bobi Wine ne Banne mwe babadde era n’emenya elimu ku ddirisa lye motoka ye oluvanyuma ne basuulamu akakebbe ka ttiya gaasi olwo ne bamukwata natekebwa mu kamotoka bakuntumye natwalibwa mu kifo ekitanamanyika.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com