BUGANDA ekyakungubagira John Mulumba Luswata 80, taata wa Nnaabagereka agenda okuziikibwa enkya ku Lwokubiri e Nkumba ku lw’e Ntebe. Wano we waaziikibwa bajjajjaabe ne kitaawe Nelson Nkalubo Sebugwawo. Yazaalibwa August 22, 1938.
Yafudde Lwakuna mu ddwaaliro e Nakasero gy’amaze ekiseera ng’atawaanyizibwa ensigo n’omutima. Abadde ajjanjabirwa n’e Mulago. Katikkiro Charles Peter Mayiga yafulumizza enteekateeka z’okuziika ezitandika n’okusaba mu lutikko e Namirembe leero ku Mmande ku ssaawa 4 ez’enkya.
Ebyafaayo bya Luswata ebyafulumiziddwa famire ye biraga nti alina abaana mukaaga okuli Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nelson Kikubira Luswata, Barbra Mbalwowere Luswata Mutengu, Juliet Namagga Luswata Kinarwa, John Mulumba Luswata ne Patrick Nsubuga.
Amaze nemukazi we, Edith Luswata emyaka 50 nga ku gyo 41 babadde mu bufumbo obutukuvu mwe bazaalidde abaana bana- Nelson, Barabra, Juliet ne John Jr. Luswata alese abazzukulu 15.
Yasomera Kings College Budo mu 1946-1955 n’adda mu Kyambogo Technical College gye yafuna ebbaluwa mu byamasannyalaze (Elecytical Engineering).
Yeeyongerayo e Bungereza mu ttendekero lya Technical College Holborn. Yakolera mu Gavumenti ya Kabaka mu kitongole ky’Ebyemirimu, Otis Company e Bungereza ne mu ddwaaliro e Mulago gye yali avunaanyizibwa ku byamasannyalaze okutuusa lwe yawummula mu 1984.
Bwe yawummula n’atandika okwekozesa ng’omulimi era omusuubuzi. Yatandika woteeri ya JEB Café e Nkumba ku lw’e Ntebe gy’addukanyizza ne mukazi we kati emyaka 25. Abadde muwagizi nnyo wa mupiira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com