AKULIRA akakiiko k’amaggye ag’okuntikko mu Ggwanga lya Sudan era nga ye Minisita we by’okwerinda Awad Ibn Auf asazeewo okudda ebbali nga wakayita ennaku bbiri nga amaggye gakawamba abadde omukulembeze we Ggwanga lya Sudan Omar al-Basir.
Kino kiddiridde ab’ekalakaasi okulemera ku nguudo mu kibuga ekikulu Khartoum, nga baagala abakulu mu maggye ababadde bakolagana ne Bashir nabo balekulire obuyinza babulekere abantu ba bulijjo.
Bwe yabadde ayogera eri eGgwanga nga asinziira ku ttivvi ye Ggwanga lino ku lw’okutaano akawungeezi Awad Ibn Auf yagambye nti asazeewo okudda ebbali alekere Lieutenant General Abdel Fattah Abdelrahman Burhan abeere omukulembeze wa kakiiko k’amaggye owekiseera okusobola okuyisa Sudan mu kiseera ekya kazigizigi.
“Nasazeewo okudda ebbali okusobola okussaawo obumu mu maggye, saako n’okulaba nga eggwanga litereera, era tusaba abantu mwenna muve ku nguudo ebintu bigenda kutereera” Bwe yagambye.
Wabula n’okutuusa kati emitwalo ne mitwalo gy’abannaNsi be Ggwanga lya Sudan bakyali ku nguudo nga balaga obutali bumativu olw’abanamaggye ab’ekomezza obuyinza ate nga babadde bakola ne Bashir kye bagamba nti tebagenda kukikkiriza
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com