KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti obutateeka bukwakkulizo bungi ku muyimbi omuto Patrick Senyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid, wabula bafube kulaba nga bakulakulanya ekitone kye asobole okuba ow’omugaso eri e Ggwanga lye mu maaso.
“Okusoma kirungi nnyo ffenna twagala abaana basome, naye tulina n’okufaayo ne ku bitone ebiba byeyolese amangu mu baana bano, kye ndowooza nti kye kisinga obukulu okusinga okubituulira.” Katikkiro bwe yategezezza.
Yabadde ku ssomero lya Pioneer Pulayimale elisangibwa e Nansana mu Wakiso ku mukolo kwe yayitibwa okukyalira ku bayizi oluvanyuma lw’okumusaba agendeyo gye buvuddeko bwe baali baleese oluwalo lwabwe e Mengo.
Yategezezza nti kirungi abazadde n’abasomesa okulaba okwetegereza abaana nga bakyali bato basobole okubazuulamu ebitone bye balina kye yagambye nti kigenda kuyamba abaana okutandika okubikozesa nga bukyali ate ne bayamba ne famire zaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com