OMULIMU gw’okuzimba eddwaliro lye Kayunga gutambula bukwakku, era kikakasiddwa nti ligenda kukwasibwa Gavumenti ku nkomerero y’omwaka guno sso ssi mwaka gwa 2020 nga bwe kyasooka okuba.
Akulira omulimu gw’okuzimba eddwaliro lino wansi wa kkampuni ya Arab Contractors Limited Eng. Hytham Ederby, agamba nti tebagadde kukereya balwadde kubanga emirimu gy’okuzimba amalwaliro tegifananako nga abazimba ebizimbe ebilara nga baagadde bamalirize mangu obujjanjabi bugende mu maaso.
Okw’ogera bino Eng. Eldeby yabadde alambuza the Watchdog omulimu ogw’akakolebwako ku mande, mwayalagidde ebitundu ebisinga obunene nga bimaze okuggwa, omuli ebizimbe ebikadde eby’eddwaliro lino abyali eby’okuddabirizibwa, saako n’ebimu ku bifo awaterekerwa eddagala ebyali mu mbeera embi nga kati byonna bilabika bulungi.
Yagambye nti eddwaliro eppya ligenda kuweza ebitanda 300 nga ekkadde libadde lya 100 byokka, mugenda kubaamu ebifo 2 eby’omulembe omuterekerwa eddagala, ekifo ekinene ddala awatuukirwa abalwadde, ebifo 3 awakebererwa endwadde ez’enjawulo, ebifo 3 we balongooseza, ennyumba z’abasawo ez’omulembe 32 nga kwotadde ne bisulo by’abayizi abasoma obusawo.
Muno era mugenda kubaamu offiisi ez’abasawo abakugu mwe bagendanga okwekebejjeza abalwadde nga tewali kutataagana nga bwe kibadde mu kkadde, saako ne bifo wabweru abalwadde we bawummulira okufuna ku mpewo ey’obulamu.
Mu mbera eno ne bannakayunga nabo bafunyemu oluvanyuma lw’okuba nti aabavubuka abasoba mu 200 balina emirimu gye bakola wakati mu kuzimba eddwaliro lino.
kuno kw’ogatta abafumba emmere ne by’okunywa nga kati nabo basembera awali eddwaliro eppya elizimbibwa okwenogera ku nsimbi nga batunda eby’okulya n’okunywa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com