OMUBAKA wa Gavumenti mu disitulikiti ye Luweero Feibe Namulindwa alabudde bannanyini mabbaala abefunyiridde okukozesa abaana abawala abato okukikomya kuba babatyoboola n’okuttattana ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Namulindwa yategeezezza nga bwe bamaze okutemezebwaako nti abawala naddala abali wansi w’emyaka 18 bakozesebwa okuwereza omwenge mu ma baala saako n’okusanyusa abadigize ekiro nga bazina bali bukunya ekintu ekikyamu kuba babayigiriza obuseegu.
RDC yategeezezza nga bwe batandikidde ku kwogera na ba bbaala, saako n’okusomesa abazadde akabi akali mu kukkiriza abaana abato okukola mu ma bbaala kye yagambye nti kye kivuddeko buseegu okweyongera ennyo mu Ggwanga, nagamba ekigenda okuddako kugenda kuba kukola bikwekweto okusobola kuyoola bannannyini bbaala ezo, saako n’abawala abanasangibwa nga bakola ebitali mu mateeka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com