PALIMENTI kyadaaki ekakasizza omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi ku kifo ky’obumyuka bwa Ssentebe wa kakiiko akalondoola enkola y’emirimu mu makampuni ga Gavumenti COSASE okudda mu kifo ky’omubaka Moses Kasibante sipiika gwe yawa atuule ku kakiiko akakakasa abantu ababa balondeddwa Appointments committee.
Gye buvuddeko akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palimenti Betty Aol Ochan yali yalonda omubaka Kasibante okumyuka Mubarak Munyagwa ku kakiiko ka COSASE, kyokka sipiika Rebecca Kadaga nagaana era namuwa ekifo ku kakiiko akalala nga asinziira mu buyinza obumuweebwa Ssemateeka we Ggwanga okukulembera ababaka abatalina kibiina.
Wabula eky’okukakasa Kasozi ababaka abamu tekibakoze bulungi, abakulembeddwa Joseph Sewungu owa Kalungu bategezezza nti ekibiina kya FDC kyalemeddwa okulwanirira Kasibante nga ekikolwa eky’okweyagaliza mu kibiina kyabwe munda.
KIno kyatuukawo Kasibante bwe yaganibwa okumyuka Munyagwa, ekyaddirira Ssabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafabi kwe kulonda Omubaka Ibrahim Kasozi.
Ku lw’okuna Kasozi yakakasiddwa okumyuka Mubarak Munyagwaku kakiiko ka COSASE era naasuubiza okukola ennyo okulaba nga wabaawo obwenkanya mu kukozesa ensimbi z’omuwi w’omusolo mu bitongole bya Gavumenti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com