OKUVA Mengo lwe yawa abakulembeze ba Disitulikiti ye Mukono ekilagiro okwegula, oba okujja ekitebe kya Disitulikiti ku ttaka ly’ayo, ennaku zino bali ku bukenke nga ba kkansala baatuuse n’okukuba akalulu okukkiriza Ssentebe Andrew Ssenyonga agenda mu nteseganya ne Mengo.
Gye buvuddeko Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yawandikira zi Disitulikiti zonna ezilina offiisi ku ttaka ly’obwaKabaka okwegula mu bifo mwe baateeka ebizimbe byabwe oba okubisengula bwe baba balemeddwa.
Mu lutuula lwa kkanso ya Disitulikiti olw’atuula nga 30 omwezi oguwedde ba kkansala baasika omuguwa ku nsonga ye ttaka nga abamu bagamba nti tebanamanya oba ettaka lya bwaKabaka oba lya Disitulikiti, era nga abamu baasaba basooke basomesebwe bategeere ani nanyini ttaka okuli ekitebe.
Oluvanyuma Ssentebe Andrew Ssenyonga yabategeeza nti kituufu ettaka okuli ekitebe kya Disitulikiti lya bwaKabaka era nti bwe baba nga baagala enkolagana ennugi ne Mengo balina okuteesa nayo mu ngeri eya kisajja kikulu, ebawe liizi oba okwegula bafune ekyapa kyawo.
Wabula kino abamu ku bakiise nga bakulembeddwamu omukiise w’ebizinga bye Buvuma Asuman Muwummuza baali bakisimbidde ekkuuli nga bagamba nti basooke kutunula mu nsonga omuli ez’abesenza ku ttaka lino mu makubo agataali malambulukufu.
“Banange tetwetaaga kumala biseera bingi ku nsonga eno kubanga mwenna mwalaba nga mukadde waffe Pulezidenti akwasa Katikkiro w’obwaKabaka bwa Buganda ebyapa, ebyapa ebyo byali bya mbuga z’amagombolola n’amasaza mu Buganda kati wano tuli ku ttaka ly’agombolola ya Mituba iv Kawuga, era kye tulina okukola kwe kulaba nga tuteesa ne mengo twegule oba tufune liizi” Ssenyonga bwe yanyonyola.
Oluvanyuma abakiise 15 baasalawo nti enteseganya ne mengo zigende mu maaso ate 12 ne bagamba balindeko basooke kunonyereza ab’esenza ku ttaka mu mankwetu.
Ekizimbe eky’ogerwako mwe muli offiisi ya Ssentebe, ey’akulira abakozi, ey’omumyuka wa Ssentebe, eya Sipiika n’abakozi abalala bonna.
Ettaka lino lye limu ku byapa 213 Pulezidenti Museveni bye yazaayo eri Obwakabaka bwa Buganda mu mwaka gwa 2014.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com