MINISITA w’ensonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Abubaker Jeje Odong kati yagenda okusalawo ku nsonga za Minisita munne Aidah Nantaba oba anagenda ku Poliisi okukola sitatimenti oba nedda, ku misango gy’okuttibwa kw’omuvubuka Ronald Sebulime.
Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga yategezezza bino mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuzibwa buli lwa mmande ku kitebe kya Poliisi e Naggulu, bwabadde ayanukula ku nsonga za Minisita omubeezi owa ICT Aidah Nantaba okugaana okugenda ku poliisi okukola sitatimenti, nga bwakilambika mu bbaluwa gye yawandikira akulira okunonyereza mu misango mu kitongole kya poliisi.
Enanga ategezezza nti bamaze okutekayo okusaba kwabwe nga Poliisi eri Minisita we nsonga z’omunda okuwabulwa, era bakyalinda mawulire kuva gyali olwo beeyongereyo mu maaso n’omusango guno.
Kinajjukirwa nti Minisita Nantaba ku lunaku Sebulime lw’attibwa yatemya ku Poliisi nti waliwo omuntu ali ku pikipiki amulondoola, era nga atidde nti ayinza okuba ayagala kumutta, era n’esindika basajja baayo nebawondera Ssebulime ne bamukwata ate oluvanyuma ne bamutta nga tanatusibwa ku Poliisi ye Naggalama.
Enanga agamba nti singa Minisita akkiriza okukola sitatimenti ejja kuyamba nnyo mu kunonyereza kwe baliko okuzuula amazima agaaliwo ku lunaku olwo.
Ku ky’okugenda mu maka ga Nantaba okumujjako sitatimenti, Enanga agambye ekyo tekisoboka kubanga tekiri mu mpisa z’aPoliisi mwekolera emirimu gyayo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com