MINISITA Omubeezi owa Tekinologiya Idah Nantaba era nga ye Mubaka omukyala akikirira Disitulikiti ye Kayunga mu Palimenti avuddeyo nategeeza nti ssi gwe mulundi ogusooka abatemu okwagala okutwala obulamu bwe, nagamba nti ye akikakasa nti omuvubuka Ronald Sebulime yali ayagala kumutta.
Mu mboozi eya kafubo ne Watchdog Uganda Nantaba yategezezza nti awulidde amaloboozi mangi nga abantu boogera nga n’abamu tebalina kituufu kye baamanya ku by’aliwo ku lunaku lwa ssande.
“Nze neesiga Katonda wange yekka kubanga yantaasa ku batemu bonna abazze baagala okutwala obulamu bwange. Mu kusooka abatemu nga beerimbise mu Poliisi baali bankubye amasasi nga 26/10/2015 ku kitebe kya Poliisi mu Town Council ye Kayunga, era Poliisi yenyini yanfuuyira
omukka ogubalagala oluvanyuma ogw’azuulibwa nti tegwali guno ogukozesebwa bulijjo mu kukkakanya obujagalaro, kubanga gw’ankosa nnyo era ne mmala akaseera nga nzijanjabwa mu malwaliro ag’enjawulo.
Omwaka oguwedde nasalawo ne njabulira amaka gange n’okutuusa kati sigaddangamu, kubanga waaliwo abantu abeeranga ku pikipiki nga banondoola buli kadde era olumu neekengera n’embaako we nakyama mu bitundu bye Mengo nga neefudde agenze okugula emmere ye mbwa zange, era eno nalwayo kko nga nninda ekiddirira.
Oluvanyuma nakitegeera nti bano baagenda ku geeti yange nga balina ne mmundu ne bagumba awo, baamalawo akaseera nga balaba situuka ne basalawo okukonkona era muwala wange Stella Najjemba yajja naggulawo nga alowooza nze nkomyewo.
Bano bamubuuza oba nga nali nyingidde wabula nababuzabuza nti tamanyi oba mwendi, naddayo munju munda nankubira essimu nantegeeza nti Maama tokomawo waliwo abasajja 2 ku geeti bali mu ngoye z’aPoliisi ne pikipiki etaliiko nnamba omu akutte emmundu omulala talina.
Baalindirira wabweru okumala akaseera era saakomawo waka okusinziira ku magezi muwala wange ge yali ampadde, n’okutuusa kati nasenguka siddangayo n’okutuusa kati.
Guno ogw’okussande nkitwala nti mulundi gw’akuna nga baneegezaamu, kubanga omuntu agenda okukyalira abaana ku ssomero e Kabimbiri ayitawo atya nagenda mpaka ku Sezzibwa? Ye abange bwaba kale yali abuze bwe bamulagirira lwaki bwe yakomawo emabega teyakyama ku ssomero?, wabula yasalawo kungoberera ne tuyita e Namaliiri, Ndese, Nakifuma zonna Tawuni ezo nga angoberera kyagamba nti yali yali akyabuliddwa essomero mwe yatwala abaana be okusoma?
“Olulala abatemu era bampa obutwa n’entwalibwa e Nairobi abasawo ne bagezaako okunzijanjaba era ne bampereza e Washington mu America gye nawonera, kale olw’okuba abantu ebintu ebintuukako ebisinga tebabimanyi mbisilikira ky’ova olaba nga teri ampolereza” Nantaba bwe
yayongeddeko.
Yategezezza nti akyayagala Poliisi emunyonyole ani eyalagira abaselikale okutta Sebulime nti kubanga yali ayagala bamuleetere nga mulamu amunyonyole lwaki yali amulondoola, oba ani amutuma.
Ku nkomerero ya Sabiiti ewedde Minisita Nantaba yategeeza Poliisi ye Naggalama nga bwe waaliwo omuntu amulondoola ku Pikipiki okuva ku mugga gwa Sezzibwa okutuuka e Naggalama, era poliisi n’emutebuka n’emugoba okutuusa bwe yamukwata, n’emussa ku mpingu wabula ne kitegerekeka nti baamutta nga bamaze okumusiba ekyaviirako omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga oketonda ku lwa basajja baabwe olw’ekikolwa ekyakolebwa abaselikale b’ekitongole kya Poliisi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com