MINISITA omubeezi owa Tekinologiya Aidah Nantaba akombye kw’elima nategeeza nga bwatagenda kusasula yadde ekikumi eri aba famire y’omugenzi Ronald Sebulime ababadde bagamba nti alina okubasasula n’okulabirira bamulekwa abasoma.
Kino kiddiridde abakungubazi mu kuziika Sebulime okwogera nti Minisita Nantaba alina okusasulira famire ya sebulime olw’ensonga nti yeyavuddeko okufa kwe.
Wabula bano Nantaba abanukudde nabategeeza nti teyabadde n’amukono gwonna mu kufa kwa Sebulime nga n’olwensonga eyo tagenda kubasasula yadde ennusu.
“Nze nakoze obuvunanyizibwa bwange okutegeeza ab’ebyokwerinda nti waliwo omuntu annondoola gwe neekengedde, era Poliisi ye Naggalama ne Mukono ne bakola ogw’okumunoonya, nze nange nabadde mwagala nga mulamu mubuuze lwaki yabadde annondoola na kiki kye yabadde anjagaza, naye nange ekyanzije enviiri ku mutwe be baselikale okumuleeta nga bamusse” Nantaba bwe yategezezza.
Yagambye nti anakuwalira wamu n’abafamire ya Ssebulime kubanga okufa si kintu kyangu, naye eby’okubasasula babiveeko kubanga nange nkyebuuza ani eyalagidde omuselikale okutta sebulime.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com