OMUBAKA wa Rubaga North mu Palimenti Moses Kasibante addukidde w’amumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah amuyambe okugonjoola ensonga ze ez’okuzzibwa ku kifo kye yalondebwamu okubeera omumyuka wa Ssentebe wa Kakiiko ka Palimenti akalondoola enkozesa y’ensimbi mu bitongole bya Gavumenti COSASE.
Ennaku zino Kasibante alabwako buli kadde nga ayingira mu offiisi y’omumyuka wa Sipiika saako ne babaka banne okuli Paulo Mwiru owa Jjinja Munisipalite, nga basaba Olanyah abayambe amuzze mu kifo ky’obumyuka.
Kinajjukirwa nti Kasibante yali yalondebwa akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palimenti Betty Aol Ochan okumyuka Mubarak Munyagwa, kyokka sipiika nga akozesa obuyinza obumuwebwa Ssemateeka okusalirawo ababaka abatalina kibiina mu Palimenti nagaana era naamussa ku kakiiko akakola ku nsonga z’okusunsula ababa balondeddwa (Appointments committee).
Kati agezaako okusala amagezi gonna ag’etagisa okulaba nga omumyuka wa Sipiika amuzza ku kifo kino, wadde nga Ssabawandiisi wa FDC Nandala Mafabi yali ekifo yakijjuzaamu dda omubaka Ibrahim Kasozi.
Kasibante bwe yatukiriddwa yagambye nti kituufu akyayagala okuzibwa ku kakiiko ka COSACE, nti era buli kadde abadde asisinkana Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga Rebecca Kadaga ku nsonga yeemu.
Kigambibwa nti emu ku nsonga azagannyisa Sipiika pkuteeka Kasibante ku kakiiko kano, kwe kuba nti mu biseera we yayongerezaayo ekisanja ky’omubaka Abudu Katuntu, Ksibante aliko ebigambo bye yakozesa nga bimulumba, ekilowoozebwa nto yanyiiga engeri gye yamulinako obuyinza n’amuwaamu akakiiko akalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com