MUNNAMAWULIRE eyakwata ebifaananyi n’akatambi nga Gen. Matayo Kyaligonza n’abakuumi be bakuba omuserikale wa tulafiki Esther Namaganda naye atutte Kyaligonza mu kkooti olw’okumukuba ng’ayagala amuliyirire obukadde 340.
Kyaligonza (ambasada w’e Burundi) alopeddwa wamu n’abakuumi be babiri okuli Cpl. Peter Bushindiki ne Pt. JohnRobert Okurut nga bano Otai baalumirizza nti beebamukuba empi ku matama n’okumusamba tteke ku biragiro bya Kyaligonza.
Agamba nti nga February 24, 2018 yali ku kuuma ka Centernary banka ng’aggyayo ssente e Seeta n’alengera nga abaserikale batulugunya owa tulafiki omukazi n’ayanguwa okweyanjula n’atandika okukola omulimu gwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com