MINISITA omubeezi ow’ensonga z’amazzi Ronald Kibuule agamba nti kyetaagisa Gavumenti okutandikawo kkooti n’abalamuzi abamanyi obulungi ensonga z’obutonde bwe Nsi, okusobola okuwozesa abantu ababa boononye obutonde bw’ensi.
“Abantu bangi benyigidde mu bikolwa eby’onoona saako n’okusanyizaawo ddala obutonde bw’eNsi omuli okusanyawo ebibira, entobazi, okuyiwa kasasiro buli we basanze ne bilala, naye kyewunyisa nti abamu bakunnumba nga tewali yadde abakutteko” Kibuule bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde mu bimuli bya Meeya e Mukono bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo abakulembeze ba Munisipaari ye Mukono kwe baawereddeyo ekimotoka ekiyoola ebisaniiko eri abatuuze b’ekibuga, eky’abawereddwa ekitongole kya Lake Victoria Enviromental Project ekitundu eky’okubiri, nga kyawemense obukadde bwe nsimbi za Uganda 530.
Wano we yasinzidde n’agamba nti kkooti ezabulijjo zitwala obudde bungi okulira emisango, nti naye bwe wabaawo kkooti y’obutonde bw’eNsi eyetengeredde emisango esobola okujanguya abantu abalina endowooza ebusanyaawo ne batya era ne bataddamu nga bwe kiri kati.
Yakubirizza abantu okufaayo okusimba emiti egy’ebibala, kye yagambye nti tekikoma kuyamba bbo bokka nga abantu wabula kiyamba n’okukuuma obutonde.
Ye Meeya we Kibuga kye Mukono George Fred Kagimu mu kwogerakwe yagambye nti gye buvuddeko babadde balina ebimotoka ebiyoola kasasiro naye nga bitono tebimumalaayo bulungi nagamba nti eno egenda kubayambako kubanga nnene ate mpya nga buli wamu ejja kutuukawo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com