EMPAGI luwaga y’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye agamba nti entalo ezigenda mu maaso wakati mu booludda oluvuganya Gavumenti zikumwamu omuliro Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni yenyini, kubanga ekigendererwa kye kwe kubawulamu asobole okubawangula.
Besigye agamba nti ekimukozesa bino byonna kwe kuba nti ayagala okubanafuya, asobole okuba nti abawula yawulamu abafuge bulungi nga tewali asobola kukuba poko poko w’abyabufuzi, saako n’okubaziyiza okubunyisa enjiri y’oludda oluvuganya.
Okwogera bino yabadde ayogerako eri abayizi bamatendekero ag’awaggulu abakkiririza mu kibiina kya FDC abavu mu kitundu ky’obukiika kkono bwe ggwanga ku nkomerero ya wiiki ewedde.
Nga wano we yasinzidde n’abategeeza nti ekibiina kya NRM kikola oulimu munene okutondawo entalo saako n’okwelumaluma mu b’oludda oluvuganya naddala nga okulonda okwawamu kunatera okutuuka.
“Mwe abavubuka abato mbategeeza nti Gavumenti ya NRM teyagala kulaba nga ab’oludda olugivuganya beegasse, era bafuba ne batondawo ebiyinza okubalwanya, ekyo mulina okukimanya obutagwa mu katego kaabwe” Besigye bwe yagambye.
Yabanyonyodde nti n’abamulumba ku Bulange baakikola tebamanyi nti nabo bakozesebwa bukozesebwa, kye yagambye nti kyeetagisa kwegatta wamu bwe baba nga baakujja Museveni mu buyinza.
Yasabye abayizi okusigala nga bali bumu era bakomye enkola z’okwelwanyisa bo benyini, era bafube okutondawo obumu okusobola okw’elwanirira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com