OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga addusiddwa mu ddwaliro e Nakasero ng’ali bubi, ekiwalirizza ne Pulezidenti Yoweri Museveni okuwuubayo ku lubu lwe kigere yetegereze embeera eliwo.
Kitegerekese nti Kdaga obulwadde bwamutandika ku lw’akuna olw’eggulo, bwe yali yakava ku lugendo mu Ggwanga lya Morocco ne mu America gye yamala ennaku 10 nga akola emirimu gye Ggwanga.
Kigambibwa nti oluvanyuma lw’okukola ennyo nga ali emitala wa Mayanja yafunamu obugonvu, era n’akomawo nga teyewulira bulungi, wabula obulwadde bwe bwanyinyitidde kwe kuddusibwa mu ddwaliro e Nakasero.
Kino kiwalirizza Pulezidenti Museveni okuyimiriza emmotoka ze, n’agendayo mu ddwaliro amulabeko nga bwali, era amusanze mu kifo awakuumirwa abalwadde abayi (Intensive Care Unit), mu ddwaliro munda ayingiddeyo yekka, nga bonna baabadde agenzeeyo nabo abalese wabweru.
Wabaddewo entekateeka z’okumujja e Nakasero atwalibwe mu ddwaliro eddala kyokka kitegerekese nti okugendayo kwa Pulezidenti kwe kukereyesezza ensonga zonna.
Omuwandiisi wa Kadaga ow’ekyama Sam Obbo agambye nti Sipiika yalumbiddwa ekirwadde ekisibuka kku bukoowu, oluvanyuma lw’okumala ennaku eziwerako nga tafuna kuwummula kumala.
Agambye nti abadde bweru wa Ggwanga nga aliko enkungaana ezibaddemu okw’ogerera eddemb ly’abakyala n’abaana ba Uganda saako ne Nsi yonna okutwalira awamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com