OBUTAKKAANYA mu babaka ba Buganda bweyongedde nga buva ku kibiina kya NRM okussaawo akabondo ak’enjawulo akagenda okukola ku nsonga z’ekibiina. Bino biddiridde ababaka ab’ekibiina kya NRM okusinziira mu lusirika lwabwe e Kyankwanzi ne basalawo okulonda akabondo ak’enjawulo nga kakulirwa omubaka James Kakooza nga bagamba nti akaliwo keefugiddwa ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti, NRM n’etekiikirirwa bulungi.
Oluvannyuma lw’okulonda ababaka naddala abataagenze Kyankwanzi baatandise okuteeka obubaka ku mukutu gwa WhatsApp ogubagatta nga banenya bannaabwe kye baabadde bakoze kye baayogeddeko ng’ekigendereddwamu okunafuya akabondo akabagatta bonna.
Kiwanda y’abadde addukanya omukutu omukadde ogwakabondo ka Buganda. Ekikolwa ky’okugoba abamu ku mukutu, kyavumiriddwa n’abamu ku babaka ba NRM, era Kiwanda n’abaanukuza bukambwe n’abagoba ku mukutu.
Omukutu gwa Buganda Caucus gulaga nti ababaka abasukka mu 30 baagobeddwa okwabadde; Luttamaguzi Semakula (Nakaseke South), Haruna Kasolo (Kyotera), Lydia Mirembe (mukazi/Butambala), Francis Zaake (Mityana Munisipaali), Joseph Sewungu (Kalungu West) n’abalala. Ssentebe wa ‘Buganda Caucus’ Muyanja Senyonga bwe yalabye ng’omukutu gugobeddwaako ababaka abawera yawaliriziddwa okutandikawo omukutu omulala ogwa Whats App kwe yatadde ababaka bonna omuli n’abaabadde bagobeddwa. Okumanya ng’obutakkaanya bweyongedde waliwo n’ababaka abamu abaatuuse okusaba baleme kuddamu kusalibwako 50,000/- ezigenda mu kabondo ka Buganda Caucus buli mwezi. Akabondo ka Buganda Caucus kalimu ababaka 105 bonna awamu ng’abaalondebwa ku tiketi ya NRM baliko 75.
MUYANJA ABANUKUDDE: nkyali Ssentebe omujjuvu.
Omubaka Muyanja Ssenyonga bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yategezezza nti ye yakyali mu mitambo gy’akabondo ka Buganda nti era tewali muntu ayinza kumugoba kubanga teyalondebwa Babaka ba NRM bokka.
“Banaffe bano balina mitima mibi mpozzi ne milulu oba oli awo, kubanga bagamba nti ekyabatandisizza akabondo ak’enjawulo mbu baagala kusaka kuva wa mukulembeze wa Ggwanga nga awa Buganda, Mbuuza ani bulijjo abadde yabagaana okusaka? ye lwaki kino bakikola mu kiseera nga okulonda kutuuse?
Nze sigenda kwegula ku muntu yenna kubanga bbo benyini bebannonda nga baneesize, ne kye bagamba nti nwanyisa Museveni nakyo tekiriiyo, nze Museveni simulinaako mutawaana gwonna okujjako ab’eyagaliza ebyabwe be basiiba nga bateekawo ebigambo ebitaliiko mutwe na magulu.” Muyanja bwe yategezezza.
Yagambye nti agenda kufuba okulaba nga addamu okugatta akabondo k’akulembera era nga kino yakitandikidde mu kuzzaawo mukutu ku wattsup ogwabadde gugobeddwako abamu.
SIMEO NSUBUGA AYOGEDDE: Tuli ku mulamwa.
Omubaka Simeo Nsubuga eyalondeddwa nga omwogezi wa Kabondo akatondeddwawo akapya yagambye nti ekyakoleddwa kiri ku mulamwa gwe nnyini kubanga babadde balabawo omuwaatwa gw’amaanyi wakati wa Buganda ne NRM nga ekibiina ekyabaleeta mu bukulembeze, nti era babadde tebasobola kusaka bulungi kuva ew’omukulembeze we Ggwanga kubanga abakulembeze b’akabondo abaliwo tebabadde baganzi e mbuga.
“Kati abaagala ebye Mengo bajja kuyitanga mu Muyanja Ssenyonga, ate abaagala eby’Entebbe bajja kuyitanga wa Kakooza, naye tekitegeeza nti akabondo ka Buganda kavuddewo ekyo kikyamu kakyaliwo lwakuba kati kalina enkiiko bbiri” Nsubuga bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com