OWEEKITIIBWA pulezidenti Paul Kagame nkulamusizza ku lwa Bannayuganda ne ku lwange ng’omuntu.
Mpandiise okukutegeeza nti, mu ngeri etali ngenderere namaze ne nsisinkana omukazi eyakkirizza nti mmemba mu kibiina ky’abayeekera ekya Rwanda National Congress (RNC).
Omukazi ono ye Mukankusi gwe nkakasa nti omumanyi naye nze mbadde simusisinkanangako.
Waliwo mmemba wa NRM omukuukuutivu aludde ng’angamba nti waliwo omukyala munnansi wa Rwanda alina amawulire g’ayagala okung’amba era alina omuntu omulala gw’ayagala okujja naye gwe bayita Gasana naye ng’alina amawulire ag’omugaso g’ayagala okumpa.
Bwe nawulidde erinnya Gasana ne ndowooza nti y’oyo gwe twasoma naye e Ntare nga yandi wansi mu kibiina era ng’okumala ebbanga ddene abadde akolera mu minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga.
Ennaku ntono eziyise bwe bazze okundaba ne nkizuula ng’ono yabadde muntu mulala nnyo ku gwe nabadde nsuubira.
Naye nzijukira nga namulabako omulundi gumu ng’atuula ku lukiiko lw’ebyokwerinda olwa waggulu lwe baakyalira Uganda kati emyaka giyiseewo.
Bwe nababuuza kiki kye baagala okuntegeeza, Mukankusi yambuulira nti bba Rutagarama yattibwa abasajja abakolera Gavumenti ya Rwanda.
Yamenye amannya okuli: Nziiza, Munyuza n’abalala wabula ekibuuzo kiri nti kino yakikakasa atya! N’ategeeza nti abasajja abo bennyini bamwewaanirako.
Namubuuzizza kiki ky’ayagala mmukolere kubanga ezo zibeera nsonga za munda mu ggwanga e Rwanda ye kwe kuntegeeza nti yali ayagala ntegeere ebintu ebikyamu ebigenda mu maaso e Rwanda.
Wano we yantegeerezza nti yeegatta ku bayeekera ba RNC ng’ayagala mbawagire.
Namuteeza nti tetusobola kubayamba kubanga ebigenda mu maaso e Rwanda nsonga za munda mu ggwanga ne munnyonnyola nti, omukago gwa East Africa gwakirambika bulungi nti nsobi nnene nnyo abagwira okweyingiza mu nsonga ez’omunda mu ggwanga eddala, kubanga omugwira tayinza kutegeera nsonga za nsi eyo bulungi era basobola okukola ensobi ezitagambika.
Ekyookubiri, okweyingiza mu nsonga z’abalala kisobola okutabula entambuza y’emirimu wakati w’amawanga naddala mu by’obusuubuzi, entambula n’ebirala.
Noolwekyo kisaana okunywerera ku nsonga ezizimba enkolagana y’amawanga gombi.
Bye namugambye teyabisanyukidde kyokka era ne mmutegeeza ne mugamba nti nja kubikutegeeza mu buwandiike.
Ku ludda olulala, Gasana yeegaanye okubeera n’akakwate ne RNC wabula yazze ng’ayagala kuyambako omukyala Omuzungu Wolfson gwe twagoba wano nga by’akola tebitegeerekeka ng’ayagala akomewo akole emirimu gye egy’obwannakyewa.
Yagambye nti bbo ng’abakolera ebweru w’eggwanga bakozeeko naye, era yantegeezezza nti ekiseera kino akolera mu kitongole ky’Abayisirayiri ekiwa Wolfson obuyambi. Mw. Rujugiro teyajja na bali abaasoose, yajja yekka, wabula yandabikira nga tayagala kutunda bizinensi ze nga bwe yasooka okukkiriza.
Yeegaana okugabirira ssente wadde okubaako n’akakwate ne Kayumba. Mu ngeri y’emu agamba nti ne bw’atunda bizinensi z’alina mu Uganda, asigala akola sente okuva mu buzinensi z’alina mu mawanga amalala nga Angola, DR Congo, n’amalala agawerera ddala munaana.
Nti singa aba ayagadde asobola bulungi okuweereza ssente okuva mu mawanga ago nti wabula talina ky’ayagala ku byabufuzi bya Rwanda era abalwanyisa Gavumenti ya Kagame tajja kubawa ssente. Yagambye nti yawagira RPF ng’asabiddwa omugenzi Rwigyema naawe kennyini.
Ssinga abeera ng’akyali kizibu eri Rwanda, amagezi amangu ge nkuwa kwe kukozesa kkooti mu Uganda okakase nti mutujju awo eby’obugagga bye bisobola okuteekebwako envumbo.
Nakuwandiikira ebbaluwa nga October 15, 2018 naye tewannyanukula, ebbaluwa eyo mwe mwali ekirowoozo ekyo. Abantu abo bonna baafuluma Uganda oluvannyuma lw’ennaku ntono nga mmaze okubasisinkana, ebbaluwa eno egenderedde kukutegeeza bye naggya ku bantu abo.
Nga bwe nakutegeeza nga tusisinkanye, tosaana kubeeramu kakunkuna kufuna ndowooza nti Uganda ewagira abayeekera.
Ekyamazima ekyo mbadde sinnaba kukiwulirako nga Rwanda egamba nti Uganda ewagira ebikolwa eby’engeri eyo.
Kye nawulira ne kye wangamba lwe twasisinkana nti waliwo abayinza okubeera nga basinziira e Uganda okuwandiika abayeekera era eno y’ensonga etwetaagisa eggye ery’awamu ligigonjoole.
Nayita Omubaka wa Rwanda mu Uganda Mugambagye ne mukwataganya ne minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga kyendowooza nti kituwa ekkubo eryangu okubirondoola.
Ekikyamu kwekubeerawo nti Rwanda ekukuta n’abamu ku bakozi ba Gavumenti ya Uganda.
Mpulira bingi naye nsengejja era siyinza kuvaayo kubyasanguza okutuusa nga mmaze okubikakasa. Yoweri Kaguta Museveni Pulezidenti wa Uganda. March 10, 2019.
Wabula newankubadde nga Pulezidenti Museveni yawandiise nga March 10, 2019 n’annyonnyola, okusinziira ku nsonda ez’enjawulo e Rwanda bakyakitwala nti Museveni ayambako abayeekera abaagala okuggyako Kagame.
Teyakomye ku kusisinkana Mukankusi yekka, alina omusajja gwe yazze naye n’ategeeza nti ye Gasana.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com