OMUKULEMBEZE we kibiina kya Democratic Party (DP) Nobert Mao atabukidde munnakibiina munne era nga ye Mubaka mu Palimenti akiikirira ekitundu kye Butambala Muhamad Muwanga Kivumbi, n’amulangira okuba munnakyalo atalowooza ku byaba agenda kwogera, wabula n’asalawo okumuwayirizanga buli kadde, kyagamba nti tagenda kukikkiriza.
“Nze Mao ndi musajja mukulu atayinza kukkiriza bavubuka nga Muwanga Kivumbi kumpayiriza buli kaseera saako n’okunjogerako ebigambo ebiyinza okunkyayisa mu bantu tujja kuttunka, kubanga abantu abamu bagenda ne baleeta endowooza zaabwe ez’omukyalo, ne balowooza nti buli wamu zijja kukolawo, ekyo sijja kikigumikiriza, endowooza z’omukyalo kye Butambala zirina okubaako ne we zikoma” Mao bwe yategezezza.
Mao okutabuka bwati yabadde mu lukungaana lwa bannamawulire olwa buli sabiiti ku kitebe kya DP mu Kampala ku lw’okubiri, bwe yabadde ayanukula ku bigambo eby’amwogeddwako Omubaka Muwanga Kivumbi ku mikutu gya mawulire nga agamba nti waliwo omupango wakati wa Pulezidenti Museveni ne Mao ogupangiddwa okusobola okw’abuluzaamu ab’oludda oluvuganya Gavumenti saako n’okubanafuya nga Mao yagenda okuguwomamu omutwe, nga ayita mu kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kulonda okujja.
Ono agamba nti bino omubaka Muwanga byagamba bikyamu nti era tabilinako bumanyi nti kubanga ebbanga lyonna ye (Mao) abadde awakanya Museveni ne nkola za NRM zagamba nti tazikkiririzaamu.
Ku ntandikwa ya wiiki eno Omubaka we Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi yavaayo naalaga nga omukulembeze we Kibiina kya DP Nobert Mao bwagenda okwesimbawo ku bwa Pulezidenti nga awagirwa Pulezidenti Museveni ne kigendererwa eky’okutataaganya obuwagizi bw’oludda oluvuganya, olwo Museveni ayitewo nga tasanze buzibu.
Bino we bijjidde nga waliwo obutakkanya wakati mu b’oludda oluvuganya Gavumenti, nga beelumiriza bokka na bokka okuba nti bekulubeesa ne Gavumenti eri mu buyinza ne bafuna ensimbi ezibaletedde okweyuza buli olukya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com