ABABAKA ba NRM abali mu lusirika e Kyankwanzi eky’okutondawo akabondo k’ababaka b’ekibiina abava mu Buganda, kitabudde bannaabwe abataagenze ne bagamba nti kyakoleddwa kunafuya kakiiko kaabwe n’okubonereza ababaka abaagaana okuwagira eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.
Ababaka ba NRM baatonzeewo akabondo akaabwe akataabaddeewo akagenda okugatta ababaka abava mu Buganda ke baatuumye NRM Buganda Caucus.
Abaalondeddwa baaweereddwa obuvunanyizibwa bw’okuperereza Gavumenti ya wakati okulaba ng’eteeka pulojekiti z’okukulaakulanya Buganda n’okukwatagana n’Obwakabaka mu kaweefube w’okuwagira emirimu gy’okwekulaakulanya.
Muyanja Mbabaali (Bukoto South) muwanika, Joseph Kasozi Muyomba (Bukoto Mid-West) muwandiisi, Simeo Nsubuga (Kasanda South) waamawulire, Dr. Michael Bukenya mmemba ne nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa yalondeddwa ku bwammemba nga Ex-Official.
Omuyima w’akabondo k’ababaka ba NRM ye Sam Kahamba Kuteesa (Mawogola North) era minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga.
Omubaka wa Kassanda South, Simeo Nsubuga yagambye nti obukulembeze bw’akabondo k’ababaka abava mu Buganda akagatta endowoozo z’ebyobufuzi zonna kakyaliwo era nga Muyanja Senyonga ye ssentebe waako.
Yagambye nti ekyakoleddwa baayagadde kwongera kwetereeza munda mu NRM n’okutema empenda endala ez’okutwalamu Buganda mu maaso.
Kyokka ye Moses Kasibante yagambye nti ekyakoleddwa tekyazze mu mutima mulungi era akirabamu ekigendererwa ky’okwawula mu babaka ba Buganda.
Yagambye nti nabo bandibadde basobola okukola obubondo obwefananayiriza naye tebakisobola kuba bakimanyi bulungi nti Kabaka y’abagatta nga tebafudde ku ndowooza za byabufuzi.
Francis Zaake (Mityana Munisipaali) yagambye nti: Mu mbeera nga ssentebe Muyanja Senyonga, omumyuka we Sarah Nakawunde Temulanda n’abakulembeze mukaaga ku munaana nga bamaze okugaana okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti, ebintu bye kika kino tebyewuunyisa.
Nakawunde (NRM) nga naye yabaddeyo e Kyankwazi yagambye nti tasuubira nti olukiiko lwabwe lugenda kunafuwa wadde ng’abantu bangi balina endowooza bwetyo era asuubira nti abaalondeddwa bagenda kwongera ku ddoboozi lyabwe mu kukulaakulanya Buganda.
Ensonda e Kyankwanzi zaategeezezza nti ng’okulonda tekunnabeerawo, ababaka ba NRM mu Buganda baasoose kunenya Muyanja Senyonga olw’okunyooma ekibiina n’agaana okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’omumyuka we Nakawunde wadde ng’ekibiina mwe bava kyali kisazeewo bawagire okugikwatako.
Ku lukiiko olw’abantu 9 aba Buganda Caucus, ababaka 3 be baawagira okuggyawo ekkomo mu myaka nga kuliko Haruna Kasolo, Amos Lugoloobi ne Simeo Nsubuga ate abalala 6 okuli Muyanja, Nakawunde, David Lukyamuzi, Babirye Kabanda, Florence Namayanja ne Kato Lubwama ne bakiwakanya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com