ABAKULIRA ebyenjigiriza mu Disitulikiti ye Buikwe bavuddeyo ne balagira abasomesa n’abazadde okussaamu amaanyi ku ky’okuliisa abaana emmere ennaNsi mu massomero sso ssi buuji bwokka nga bwe bakola ennaku zino.
Bano bagamba nti abaana balina okulya emmere basobole okufuna amagezi n’amaanyi, kibasobozese okukwata obulungi ebibasomesebwa.
Akulira eby’enjigiriza e Buikwe Joyce Namaganda yeyategezezza bino, mu lukungaana olwategekeddwa ekitongole kya SLOW FOOD ekitakabanira okw’ongera omuwendo ku mmere ennansi mu mawanga ga Africa ne Bulaaya, ogw’ayindidde ku ssomero lya Kibirige Memorial mu Gombolola ye Ngogwe ne kigendererwa eky’okusomesa abayizi mu massomero g’ebyalo omugaso oguli mu bibala n’omubisi gwabyo, nga amassomero 14 okuva mu Mukono ne Buikwe ge gagwetabyemu.
Namaganda yagambye nti kati ligenda kufuuka tteeka eri abakulira amassomero n’abazadde, okulaba nga bawa abaana baabwe emmere yennyini bagirye ku massomero, kubanga bakizudde nti abaana obutayita bulungi bigezo kiva ku njala okubaluma ate nga n’akakopo k’obuuji akamu ke banywa olunaku olulamba tekabamala.
“Ekirungi abazadde emmere bagilina mu nnimiro zaabwe bwe banaaba beekwasa nti tebalina sente tujja kubakaka okuleeta emmere enkalu ku ssomero kubanga baana baabwe be bagenda okugirya, ate era egenda kuyamba baana baabwe” Namaganda bwe yagambye.
Akulira eby’obulimi e Buikwe Cerina Naiwumbwe yategezezza nti bagenda kwongera amaanyi mu nkola eyokukozesa ebijimusa ekikolebwa okuva mu nakavundira kye yagambye nti kiyamba nnyo okukuza ebirime obilungi nga kwotadde n’okuvaamu emmere ey’omugaso okusinga eva mu bijimusa ebizungu.
Omukwanaganya w’emirimu mu kitongole kya SLOW FOOD mu Uganda John Wanyu yagambye bagenda kweyongerayo e Ggwanga lyonna nga basomesa abayizi mu massomero saako ne n’abantu ba bulijjo emigaso gy’okukozesa emmere ennansi etaliimu ky’ongeddwamu kyonna naddala ebibala.
“Tukizudde nga ennaku zino omubisi ogukolebwa mu bibala abantu baffe tebamanyi bintu bigwongerwamu, nga kati kyetagisa okubasomesa butya bwe bayinza okugwekolera bo benyini basobole okufunamu ekiriisa eri emibiri gyabwe” Wanyu bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com