EYESIMBAWO ku kaadi y’ekibiina kya FDC ku bwa Pulezidenti Col. Dr, Kiiza Besigye avuddeyo nategeeza bannaUganda abalowoleza mu kigambo ekigamba nti mufune endaga muntu mulyoke mujje Pulezidenti Museveni mu bukulembeze bwa Uganda, agamba nti beerimba kubanga eyo enola yokka tesobola kubaako ky’ekola.
“Aboogera ekyo ono omusajja tebamumanyi kubanga okumuggya mu bukulembeze kyetagisa kukola bintu bilara nnyo sso ssi kufuna ezo kkaadi ze babagamba zokka” Besigye bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde ku mukutu gwa TV ogumu nga addamu ekibuuzo ekyamubuuziddwa omukubiriza wa Pulogulamu “Endabilwamu” ekyabadde kigamba nti gye bwavaako yali agaana abantu okufuna endaga muntu ate kati yoomu ku basinga okukubiriza abantu okugenda okuzifuna.
Mu kwanukula Besigye yagambye nti talina mutwaana n’abantu kugenda kufuna ndaga muntu zaabwe kubanga zibayamba okufuna ebiwandiiko byabwe omuli ebitambuliso, obwannanyini ku bintu byabwe ne bilala, nti naye bwe kiba nti kye kigenda okujja Museveni mu bukulembeze awo beerimba kuba tekisoboka kyokka, kubanga ab’ewandiisa bayinza n’okutuuka mu bifo awalondebwa mu kiseera ky’okulonda nga amannya gaabwe tegaliimu mu nkalala.
“Bwe nakomawo e South Africa mu mwaka gwa 2005 abantu bangi baagenda ne beewandiisa okusobola okwetaba mu kulonda kyokka gye byagweera nga abalonzi 20,000 tebalabiseeko mu nkalala ku lunaku lw’okulonda.” Besigye bwe yagambye.
Yagambye nti yewunya abantu abagamba nti bo betefuteefu okuvuganya Museveni era bamuwangule mu kiseera kino, kyagamba nti kikyetagisa kusooka kutema makubo okulaba butya bwe bayinza okumujja mu bukulembeze nga bayise mu kwegatta nga ab’oludda oluvuganya bonna.
“Tetusobola kuvuganya Museveni ne tumuwangula mu kalulu keyetegekedde, okujjako nga tul;ina omupango gwe tuyinza okukola agwe nga okulonda kwa 2021 tekunatuuka” Besigye bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com