WAKATI mu kujjukira ssabbiiti y’amazzi, Distulikiti y’e Buikwe etongozezza polojekiti y’amazzi amayonjo agafunirwa ku maanyi g’enjuba mu byaalo 39 ebiri mu magombolola goku nnyanja okuli Ngogwe, Najja, Nyenga ne Ssi, ng’abatuuze abali mu mitwaalo ena n’ekitundu be basuubira okugiganyulwaamu.
Polojekiti egenda okuwemmenta obukadde bwa doola z’Amerika 6.7, mulimu okusima amazzi n’okugabunya mu bantu nga bakozesa maanyi gan njuba, era ng’abatuuze basasula ssilingi kikumi buli kidomola kya mazzi, ze basasulira ku smart card.
Polojekiti ky’ekimu ku bibala by’omukago wakati wa distulikiti y’e Buikwe ne gavumenti ya Iceland eyatandika mu mwaaka 2016, era nga mulimu okubunyisa amazzi amayonjo mu bantu abali ku myaalo, wamu n’okutumbula eby’enjigiriza okuyita mu kuzimbira amasomero ebibiina, enju z’abasomesa, zi kabuyonjo n’amafumbiro wamu ne ttanka z’amazzi.
Wansi wa polojekiti eno, ttaapu za sola 15 zimaze okubunyisibwa mu magombolola gano, zi kabuyonjo 150 zizimbiddwa mu masomero agasukka mu 30 aga pulayimale ne siniya, n’okubunyisa amazzi amayonjo mu bantu.
Bwe yabadde alambuza abagabirizi b’obuyambi entegeka eno ku kyaalo Bugoba mu ggombolola y’e Nyenga, Ssentebe wa distulikiti Mathias Kigongo yagambye nti baasalawo okusima amazzi okusinga okukozesa ag’enyanja oluvanyuma lw’okukizuula nti kya nsimbi nssamusaamu okusima okusinga okulongoosa ag’e Nyanja.
Yategeezezza nti enkola yagezesebwa okuyita mu kusomesa abantu engeri y’okugikozesa wamu n’okubalagirira bwe bayinza okukuuma ebikozesebwa nga biramu.
.Kigongo yagambye ntyi akasente akasabwa abantu aka ssilingi ekikumi ku buli kidomnola kagendereddwaamu kwetegekera busobozi kuddaabiriza byuuma singa bifa ng’abagabirizi b’obuyambi bavudde mu polojekiti gye bujja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com