ABANTU 3 abaafuna obuvune mu kasambattuko akaaliwo mu Kibuga kya Arua omwaka oguwedde basazeewo okutwala Gavumenti mu kkooti enkulu nga baagala ebasasule olw’obuvune bwe baafuna nga bagamba nti bwabatuusibwako eyali omuddumizi wa Poliisi mu kitundu ekyo Julius Musinguzi wamu n’amaggye ge Ggwanga.
Bano kuliko Night Eyoru, Shaban Atiku ne Jane abola, nga mu mpaaba yaabwe bagamba nti nga 13 omwezi gw’omunaana nga bali ku wooteeri ya Royal Hotel mu kibuga kya Arua ku ssaawa emu ey’akawungeezi baali bali awo ne balaba eyali omudduumizi wa Poliisi ekiseera ekyo Musinguzi nga aliwamu n’abaselikale ba Militale ne bazingako ekifo kyonna, era ne basalako n’obusenge mwe baali bagenda okusula, nga wano ekyaddirira kwe kutandika okukuba n’okusamba buli gwe baali basanga, nga bababuuza wa Omubaka Robert Kyagulanyi gye yali alaze.
Olw’okuba mu kiseera ekyo buli muntu yali yeerwanako okulaba nga adduka okuwona ekyali kigenda mu maaso, babategeeza nti baali tebategedde Mubaka gyali, wano emiggo, ebigala bye mmundu, empi n’ensambaggere byabayitamu era ne bafuna obuvune obwamaanayi, era nga kati tebakyasobola kutunula bulungi yadde okuwulira.
Bategezezza nti oluvanyuma batwalibwa ku Poliisi era ne baggalirwa mu kaddukulu kaayo ate era eno abaselikale babafuuyira omukka ogubalagala, gwe bagamba nti gwabayisa bubi ennyo nga nakati bakyalumizibwa.
“Olw’okukubwa ennyo n’okusambibwa, kati tuyunga magumba agaamenyeka, embiriizi ne nkizi bituluma, nga twagala Gavumenti etutwale ebweru we Ggwanga etujjanjabe, olw’okuba abasawo abali wano bagamba nti tebakyatusobola” bwe baategezezza mu mpaaba yaabwe.
Nga bayita mu Puliida waabwe Ladislous Rwakafuuzi baagala kkooti esooke ebajjeko emisango gy’okulya mu nsi olukwe Gavumenti gye yabaggulako, ate evunaane n’omuselikale waayo Musinguzi era bwe kiba kisoboka emugobe kubanga tasanira kuba mukozi wa Gavumenti.
Bino okutuukawo kyaddirira emmotoka y’omukulembeze we Ggwanga okukubwa amayinja ag’ajaasa endabirwamu mu kunoonya akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua Munisipalite oluvanyuma lwe yali omubaka waabwe Ibrahim Abiriga okufa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com