MAJOR Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga alabudde abavubuka mu Ssaza lye Busujju okukomya okukeeranga mu kuyimba eby’obufuzi, nagamba nti balina okufuba okukola ennyo bafune kkye balya kubanga eby’obufuzi teri abirya.
“Kummwe wano waliwo People Power gye muyimba buli kaseera gweteera emmere mu ssowaani? oba okuwererera omwana mu ssomero? naye mukeera kuyimba n’okukola enjoogaano z’eby’obufuzi ezitabayamba, muluna okuzireka” Kasirye Bwe yabategezezza.
Okwogera bino yabadde ku faamu ye gye yatuuma Camp David II esangibwa ku kyalo Munkene mu gombolola ye Maanyi, bwe yabadde asisinkanye abavubuka n’abamu ku bantu abakulu abawangaalira ku kyalo kino, nga abasomesa ku nnima ey’omulembe gyagamba nti egenda kukyusa obulamu bwabwe.
Yasekeredde ab’ekisinde kya ‘PEOPLE POWER’ n’agamba nti mu kiseera kino bamalira bantu budde, ng’abantu kye beetaaga ze ssente.
“Power ze ssente. Kati bwoyimba People Power ng’abantu tebalina ssente oba obamalira budde. Nze sikyayina kyenetaaga, nakafuna n’akasiimo kange, era kanyamba n’abantu bange kati mwe mubeera buli kaseera mukuyimba byabufuzi mu kifo ky’okukola.” Kasirye bwe yagambye
Ono era yabalabudde nti mu kulonda okujja bakyuse n’omubaka wa Busujju kubanga aliyo tamulabamu buweereza bulungi.
Wabula Kalwanga azze talaga ludda lukakafu lwagwako, nga oluusi alaga ng’ali mu kiwendo kya peole Power, so nga olulala alaga taliiyo nga ku NRM.
Kasirye Ggwanga, yaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga Mityana ne Kassanda tezinakutulwako, yagambye nti akakasa nti ssinga abantu bonna e Busujju benyigira mu byobulimi, basobola okwongera okubeera obulungi.
Nze sikyayina kyenetaaga, nakafuna n’akasiimo kange, era kanyamba n’abantu bange kati mwe mubeera buli kaseera mukuyimba byabufuzi mu kifo ky’okukola.” Kasirye bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com