OMUBAKA mu Palimenti akikirira ekitundu kye Kassanda North Patrick Nsamba agamba nti mu kulonda okujja ayinza okusuulawo kaadi y’ekibiina kya NRM gye yakozesa okujja mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu, nasalawo okujja nga talina kibiina kubanga NRM elabika evudde ku mulamwa.
“Bwe nawangula nga nina kaadi ye kibiina ekiri mu buyinza nalowooza nti nja kusobola okuwereza abantu bange bulungi, olwensonga nti ffe tuli mu buyinza, naye ebintu engeri gye bitambulamu tetegerekeka ku lwange era kati ndi wa NRM akkiririza mu People Power.’ Nsamba bwe yagambye.
Yabadde ku Tv ya NBS ku mande nga ayogera ku nsonga z’ebyobukulembeze nga bwe biri mu ggwanga, yagambye nti bwotunulira embeera nga bweri mu Ggwanga kye yali asuubira si bwe kiri kubanga abali mu buyinza beelowozaako bokka, nga kwotadde n’obubbi bwe nsimbi y’omuwi w’omusolo mu bantu ab’olubatu.
Yanyonyodde nti ekisinde kya People Power kisobola okuyingiza buli muntu kaabe wa NRM bwaba nga akkiririza mu nkyuka kyuka n’ensonga eziluma abantu.
Yayongeddeko nti basobolera ddala okukwata obuyinza kubanga ne Pulezidenti Museveni okugenda mu nsiko yakozesa abantu ne bamwagala, ne bamuwagira era ne bamwegattako nga singa tebaali bantu kwekkiririzaamu teyandiwangudde.
Ku kya Pulezidenti Museveni ne Besigye okuddamu okuvuganya, yagambye nti bombi tebasaana kuddamu kwesimbawo kubanga abantu bakooye okulaba nga b’ebokka abavuganya nga kati kyetagisaayo ku bantu abalala nga Kyagulanyi bavuganyeko nabo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com