PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni avuddemu omwansi ku bya munnamaggye Gen. Matayo Kyaligonza okusiwuka empisa bwe yakuba omuselikale wa Poliisi y’okunguudo, nagamba nti alina okuvunanibwa mu kkooti z’amateeka.
Museveni agamba nti ono alina okuvunanibwa emisango egy’ekuusa ku kuwuttula omuselikale eyali akola omulimu gwe, kyagamba nti tewali muntu ali waggulu wa mateeka kaabe mu munnamaggye ali ku ddaala erisembayo.
Okwogera bino yabadde Munyonyo mu wooteeri ya Speke Resort, mu lukungaana lwa ba Minisita ab’enjawulo abava ku zi Ssemazinga ez’enjawulo, bwe baabadde nga basala entotto butya bwe bayinza okukendeeza omuwendo gw’abanoonyi b’obubudamu ogweyongera buli olukya.
“Gyebuvuddeko nawulira nti waaliwo Genero mu maggye eyawummula nti yapacca omuselikale w’okunguudo omukya empi, ne muleekaana, kati Omuselikale oyo agena kuvunanibwa mu kkooti z’amateeka kubanga teri muntu akkirizibwa kukuba muntu munne, yadde okumuboggolera. Bwoba owulira nga oli mukambwe nnyo osobola okutusaba ne tukutwala e Somalia, eyo ye wali abakambwe abangi” Museveni bwe yagambye.
Yanynyodde nti ekimu ku bisinze okw’ongera omuwendo gw’abantu abanoonya obubudamu obungi g’emateeka aganyigiriza abantu mu nsi mwe babeera, entalo olumu ezisibuka ku mawanga, embeera y’obutonde mu mawanga ga Africane bilala, kyagamba nti abakulembeze balina okuvaayo okusala amagezi okusobola okukuuma abantu baabwe nga beeyagalira mu nsi zaabwe.
Museveni era yawadde eky’okulabirako ku Ggwanga lya Congo lye yayogeddeko nga elimu ku lisinze okufulumya abanoonyi b’obubudamu nga kati abaCongo bawera 300’000 abali mu Uganda, kwogatta Somalia nayo etwala enkumi n’enkumi mu Kenya.
Gen Kyaligonza wiiki bbiri emabega yalagira abaselikale abamukuuma ne bakwata omuselikale w’okunguudo Sgt. Esther Namaganda amataayi era ne kyaddirira ye kenyini kuva mu motooka namupacca oluyi mu kitundu kye Seeta e Mukono, ekikolwa ekyavumirirwa ennyo abantu, nga n’okutuusa kati talinnyanga yadde ku Poliis kukola sitatimenti yadde nga yayitibwa mu butongole.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com